Ababaka b'e Karamoja, Acholi, Teso, Lango, Acholi ne Sebei bawanjagidde gavument: 'Mututaase abantu baffe bafa'

Apr 01, 2022

ABABAKA ba palamenti abava mu bitundu okuli; Karamoja, Acholi, Teso, Lango, Acholi kwosa ne Sebei bawanjagidde gavumenti etuukirize obweyamo ku by'ezze ebasuubiza okukomyawo obutebenkenvu mu bitundu bino.

NewVision Reporter
@NewVision

Ababaka okuva mu bitundu bino bazze balaajanira gavumenti okubaako ky'ekoka naddala okubawa obukuumi obumala kw’ossa n’okugisaba okuliyirira abantu abazze babbibwako ente zaabwe naddala e Karamoja naye nga tewali kikoleddwa.

Omubaka wa Usuk County nga y'akuulira ekibiina kya Palamenti omwegattira ababaka b’e Teso ategeezeeza nga embeera bw'ebayinza olw’abantu abajja battibwa ne banyagibwako n’ente zaabwe nga kibasusseeko nga bbo abakulembeze.

Omubaka Bosco Okiror Wakati Ng'ayogera.

Omubaka Bosco Okiror Wakati Ng'ayogera.

Kye basaba mu kadde kano, gavumenti ebayambe eyogere n’eye Kenya balabe ente ezabbibwa n'ezitwalibwa eyo zikomezebwewo oba ebeeko engeri gy'eriyiriramu abantu kwossa n’okusindiika eggye lya UPDF lisimbe n’amakanda mu bitundu bino bikuume abantu kubanga teri yadde bbalakisi yaabwe kiyambako okuzza obutebenkevu mu bitundu bino.

Ye omubaka omukyala owa Soroti City,  Joan Alobo Acom awadde gavumenti amagezi ewe abavubuka ba Arrow Boys eby’okulwanyisa kubanga bbo beetegefu okuzza eddembe mu bitundu byabwe nga ne UPDF bwesimba amakanda e Karamoja.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});