SSENTEBE wa Disitulikiti ye Mityana Patrick Mugisha Nsimye asinzidde ku mukulo gw'okuggulawo eddwaliro lya MukJ Ntamugabumwe Medical clinic and laboratory servies.
Patrick Mugish ssentebe wa LC 5 Mityana District ng'ayogera
Abamu ku balwadder abazze okufuna obujjanjabi
Ssentebe wa District ye Mityana amanyiddwa nga Mugish patrick akubidde Gavumenti omulanga okubagulira ekyuma kya sikaani oluvannyuma lw'eddwaliro okumala omwaka mulamba nga teririna kyuma kya Sikaani ate nga buli mulwadde aleetebwa alina okusooka okukeberebwa nga kino kyekimu kubizingamiuzza emirimu.
Abantu nga balindiridde okufuna obujjanjabi obw'obwereere
Ye Peter Mujimba Ssenyonga omu ku bazimbye eddwaliro lino ategeezezza nti balizimbye okwongera okusembereza abantu obuweereza kuba babadde batindigga engendo empanvu ogugenda okufuna obujjamjabi.
Peter agasseeko nti eddwaliro lizimbiddwa nga lyamulembe nga n'ebyuma ebiteekeddwaamu butuukagana n'omutindo.
Wano nga balambuza ebyuma eby'omulembe ebyateededdwamu