OMUTAKA w’akasolya mu kika ky’Engabi, Aloysius Nsamba Magandaazi akuutidde Obuganda okuva ku bigambo by'ababuzaabuza ne babalemesa okuzaala.
Abasabye bazaale kyokka baweerere abaana abo olwo Obuganda lwe bunaasukkuluma. Yabyogeredde ku butaka bw’Abengabi e Buwanda mu Mawokota ku mukolo gw’okulamaga kw’abazzukulu be gye buvuddeko. Yalabudde ku kabaate akoolekedde Buganda singa banaawubisibwa ne batazaala.
“Obuganda bwala bantu kale muzaale kyokka mubazaale nga bwe mubalabirira, mubakulize mu nnambika esaanidde ate mubaweerere Buganda etinte,” Nsamba bw’agamba.
Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka b’Obusolya, Augustine Kizito Mutumba yakuutidde Ebika ebirala okulabira ku Ngabi abasukkulumye mu buwanguzi mu bintu ebitali bimu kye yagambye nti kivudde mu kukolera awamu.
Yeebazizza akulira ebyemizannyo, Lawrence Muwonge olw’obunyiikivu ky’agamba nti kibatuusizza ku buwanguzi bw’Engabo y’emipiira gy’Ebika emyaka ebiri.
Minisita w’emizannyo mu Buganda, Robert Sserwanga yakubirizza Abaganda obutamala gatuuma baana mannya kuba ennono y’amannya agamu yavanga ku bizibu ebiyinza n’okulondoola abaana mu bulamu obwa bulijjo. Ku mukolo guno kwe baayanjulidde Engabo y’Ebika gye baawangudde emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa mu 2024 ne 2025