Ssentebe wa Disitulikiti ye Mityana alaajanye ku kyuma kya sikaani

SSENTEBE wa Disitulikiti ye Mityana  Patrick Mugisha Nsimye asinzidde  ku mukulo gw'okuggulawo eddwaliro lya MukJ Ntamugabumwe Medical clinic and laboratory servies.Eddwaliro linpo lyazimbiddwa ba Diretor 5 nga ku mutendera gwa health Centre IV nga lyazimbiddwa Ssenyonga Peter Mujimba ne banne lisangibwa Kikonge Kabaka njagala ku kyalo Nalugamba mu town council ye Zzigoti  mu District ye Mityana.

Peter Mugimba ng'alaga Komisona w'ebyobulamu Alex Wasomoka eddwaliro elizimbiddwa
By Kulayishi Nsamba
Journalists @New Vision

SSENTEBE wa Disitulikiti ye Mityana  Patrick Mugisha Nsimye asinzidde  ku mukulo gw'okuggulawo eddwaliro lya MukJ Ntamugabumwe Medical clinic and laboratory servies.

Patrick Mugish ssentebe wa LC 5 Mityana District ng'ayogera

Patrick Mugish ssentebe wa LC 5 Mityana District ng'ayogera


Eddwaliro linpo lyazimbiddwa ba Diretor 5 nga ku mutendera gwa health Centre IV nga lyazimbiddwa Ssenyonga Peter Mujimba ne banne lisangibwa Kikonge Kabaka njagala ku kyalo Nalugamba mu town council ye Zzigoti  mu District ye Mityana.

Abamu ku balwadder abazze okufuna obujjanjabi

Abamu ku balwadder abazze okufuna obujjanjabi

Ssentebe wa District ye Mityana amanyiddwa nga Mugish patrick akubidde Gavumenti omulanga okubagulira ekyuma kya sikaani oluvannyuma lw'eddwaliro okumala omwaka mulamba nga teririna kyuma kya Sikaani ate nga buli mulwadde aleetebwa alina okusooka okukeberebwa nga kino kyekimu kubizingamiuzza emirimu.

Abantu nga balindiridde okufuna obujjanjabi obw'obwereere

Abantu nga balindiridde okufuna obujjanjabi obw'obwereere

Ye Peter Mujimba Ssenyonga omu ku bazimbye eddwaliro lino ategeezezza nti balizimbye okwongera okusembereza abantu obuweereza  kuba babadde batindigga engendo empanvu ogugenda okufuna obujjamjabi.
Peter agasseeko nti eddwaliro lizimbiddwa  nga lyamulembe nga n'ebyuma ebiteekeddwaamu butuukagana n'omutindo.

Wano nga balambuza ebyuma eby'omulembe ebyateededdwamu

Wano nga balambuza ebyuma eby'omulembe ebyateededdwamu