Abalotale y'e Gayaza beetabye mu misinde gy'okulwanyisa Kookolo

Aba Gayaza Rotary Club beegasse ku nsi yonna okudduka emisinde gy’okulwanyisa kookolo nga bano emisinde bagitandikidde Nakwero ne beetooloola ebyalo okuli; Manyangwa, Gayaza, Zitemwa ne mu Canan Sites e Nakwero.

Abalotale y'e Gayaza beetabye mu misinde gy'okulwanyisa Kookolo
By Samuel Tebuseeke
Journalists @New Vision

Bano bakulembeddwamu Rtn Marceline Ssempijja eeyebazizza abeetabye mu misinde gino nga bagula emijoozi n'asaba abantu okwongera okuwagira abatalina kubanga Katonda aweeramu empeera.

Dan Kibuuka Kiguli ne Ying. Ivan Watta abakulembeze mu Rotary Club of Gayaza bo be bakulembeddemu ekibinja kya bannalotale okuva e Gayaza nga bo baddukidde Kololo-Kampala ewabadde omukolo omukulu.

Kibuuka ategeezezza nti wadde badduse misinde kuyamba balwadde ba Kookolo naye nabo bafunyeemu nnyo kubanga okudduka nalyo ddagala eri buli omu era bakubirizza abantu bulijjo okujjumbira ebintu nga bino.