EBUGGUMU lyeyongedde ku kisaawe e Kololo oluvannyuma lwa banna- kibiina kya NRM ku lukiiko lwa NEC ne Palamenti okutandiika okubasoma amaanya okwesoga ekibangirizi we bagenda okusimba ennyiriri okulonda abakulembeze baabwe.
Olwaleero abakiise okuva mu bibinja mwenda be bagenda okulondebwa bayite 'Special interest groups' (SIGs) okuli abaliiko obulemu ,abavubuka, abakadde , abakyala , abasuubuzi ( entrepreneurs ) , abazirwanaako n’abakikkirira abakozi ku NEC ne Palamenti
Wabula ebuggumu lisinze kubeera mu kibinja kya bagenda okukikkirira abasuubuzi naddala ekifo kya ssentebe waabwe [Chairman Entrepreneur League” okuli abagagga b’omu Kampala abamaanyi abavuganya ku kifo kino okuli Hajji Hassan Basajjabalaba, King Ceasor Murenga ne Philp Kakuru omugagga munnayuganda abeera e South Africa.
Ekifo ekirala okuli embiranyi kye kya ssentebe wa bazirwanaako e kibaddeko Rt. Maj Gen. Jimmy Muhwezi avuganya ennyo ne Rt. Lt, M. Mushabe nga nabo bataddewo obunkenke kw’ani atwala ekifo kino Muhwezi ky’abaddemu okumala ebbanga.