Kibuyaga asudde ekipande ne kigwiira emmotoka

Kibuyaga abadde mu nkuba eyafudembye ku Lwokubiri emisana yasudde ekipande ekyagwiridde mmotoka  ssatu e Namasuba ku Bata-Bata ku luguudo lw'e Ntebe.

Ekipande ekigwiiridde emmotoka
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
Kibuyaga abadde mu nkuba eyafudembye ku Lwokubiri emisana yasudde ekipande ekyagwiridde mmotoka  ssatu e Namasuba ku Bata-Bata ku luguudo lw'e Ntebe.
 
Mu kugwa  ekipande ekya kkampuni ya  Allied Media kyayonoonye  omudumu gw'amazzi ga National Water omunene embeera n'eyongera okusajjuka.
 
Mukoka naye yakuluggusissa boodabooda ezaabadde zisimbye ku makubo  ssaako n'emmotoka okubbira mu.mazzi.
 
Salongo Musije ssentebe wa Lufuka Bunamwaya mu munisipaali ya Makindye Ssabagabo mu Wakiso yagambye nti emyala gya Lufuka egitagogolwa gye gimu ku biviiriddeko amazzi obutatambula ne gagoya ekitundu buli nkuba bw'etonnya