Iran eyiye bakomando bayambeko Russia mu lutalo

BAKOMANDO ba Iran balabiseeko mu kibuga Crimea, Russia kye yawamba ku Ukraine nga batendeka Abarussia okukozesa obunyonyi obwevuga bwokka obwa Drone - obwakolebwa mu Iran okusobola okufufuggaza Ukraine, Amerika ne yeewera nti ya kukuba Iran awaluma.

Komando wa Iran mu ddwaaniro.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BAKOMANDO ba Iran balabiseeko mu kibuga Crimea, Russia kye yawamba ku Ukraine nga batendeka Abarussia okukozesa obunyonyi obwevuga bwokka obwa Drone - obwakolebwa mu Iran okusobola okufufuggaza Ukraine, Amerika ne yeewera nti ya kukuba Iran awaluma.
Amerika egamba nti ennumba zonna ezizze zikolebwa ku Ukraine mu nnaku ezaakayita abasajja ba Iran bano be babadde emabega waazo ne batuuka n’okukuba ekibuga kya Ukraine ekikulu - Kyiv ne kisigala mu kibululu nga bakubye ebyuma by’amasannyalaze byonna ne babisaanyaawo.
Omwogezi wa Gavumenti ya Amerika, Ned Price agambye nti balina obujulizi bwonna nti abasajja ba Iran bali Cremea n’alabula nti ekya Iran okwetaba obutereevu mu lutalo luno kirina okukomezebwa mbagirawo era beerinde ekiddako.
Bino Russia ne Iran babadde tebannabyanukula nga Iran ezze yeegaana n’ebyogerwa nti y’eweereza Russia obunyonyi bwa Drone obukozesebwa ennyo Russia mu lutolo lw’e Ukraine. Kino kivuddeko ensi nga Amerika , Bufalansa, Germany ne Bungereza okuteeka envumbo ku byobusuubuzi bya Iran ne ku bakulu mu magye ga Iran olw’okuvujjirira Russia eyalumba muliraanwa waayo Ukraine.
E KHERSON RUSSIA
ESENGUDDE ABANTU 15,000
Gavumenti ey’ekiseera Russia gye yassa mu kitundu kya Ukraine eky’e Kherson etegeezezza nti yasengudde abantu 15,000 n’ebatwala e Russia olw’okubawonya okufiira mu lutalo olunyiinyiitidde ennyo nga Ukraine erwana okweddiza ekitundu kino.
Kirill Stremousov, ng’ono Putin gwe yassaawo okukulembera Kherson yategeezezza nti olw’amasasi, ebikompola, bbomu ne mizayiro ebitasirisa baasazeewo okuggyayo abantu bano olutalo lusigale wakati wa bamukwatammundu bokka olwo beemale eggayahhano.
Ne gye buli kati Ukraine ekyalwana okwezza ebitundu by’omu bukiikaddyo n’obuvanjuba Russia bye yawamba emyezi 8 egiyise newankubadde Russia yalangirira nti kati bitundu byayo oluvannyuma lw’okulondesa akalulu k’ekikngo ak’ekikwangala mu August w’omwaka guno.
Ebitundu bino kuliko: Kherson, Zaporizhzhia, Luhansk ne Donetsk