Abavubuka mwettanira enteekateeka za Gav't - RDC Mbabazi

Nov 18, 2022

RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi asabye abavubuka obutagayaalira nteekateeka za gavumenti bazikozese okusobola okwekulaakulanya.bave mu by'okwonoona amannya g'abakulembeze kubanga tebirina gye bibatwala.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

BYA KHASIFAH NAAVA

Bino Mbabazi yabyogeredde ku mukolo gw'abavubuka gwe baategesse ku kisaawe kya Lufuka mu Makindye Ssabagabo Munisipaali nga byawomeddwamu omutwe akulira abavubuka, Whycliff Mpinga .

Wano Mbabazi we yasabide abavubuka nti ssente weeziri bakole SACCO babatuukirire basomesebwe engeri gye bayinza okuziganyulwamu, bave mu ntalo ezitabayamba olwenjawukana mu bibiina by'ebyobufuzi.

Asuubizza n’okulondoola okumanya buli ssente z'abavubuka gavumenti z'ebaweereza kyezikola era bwe kisangibwa nga waliwo abakulembezze abazikozesa mu byabwe bagenda kukwatibwa basibwe.

Ye Mmeeya wa Makindye Ssabagabo Munisipaali, Godfrey Ssemwanga Kabuuzi asuubizza okutondawo buli kalimo akasoboka konna mu Ssabagabo akawe abavubuka nabo basobole okwekulaakulanya n'abasaba obuteekuluntaza, bwe balabawo akalimo konna akali mu Ssabagabo bamutuukirire alabe bw'ayinza okubanyigawo.

Meeya wa Makindye Ssabagabo Municipality Ssalongo Godfrey Ssemwanga Kabuuzi nga ayogerako eri abantu. Ekif Khasifah Naava

Meeya wa Makindye Ssabagabo Municipality Ssalongo Godfrey Ssemwanga Kabuuzi nga ayogerako eri abantu. Ekif Khasifah Naava

Ye RDC wa Makindye - Ssabagabo, Micheal Muhoozi asabye abavubuka okwegattira awamu nga tebeeyawuddemu bibiina byabufuzi oba enzikiriza mu ddiini olwo lwe bajja okusobola okutwala Ssabagabo mu maaso.

Yabayise okugenda nga mu ofiisi ye buli we baagalira, basale entotto ku ngeri gye bagenda okukulaakulanya abavubuka era n'abasaba okunywerera ku nsonga y’okwekulaakulanya awatali kudda mabega.

So nga n’oMubaka wa Pulesidenti atwala Kasangati Town Council Frank Kyazze,yasabye abavubuka okubeera ekyokulabiko ekirungi n'abasaba emize egitalina kye gibongerako okugyewala.

Eyategese omukolo guno nga y'akulira abavubuka mu Makindye -S sabagabo Municipality Whycliff Mpinga   yeebazizza nnyo abakulembeze abaabaddewo ne babajagulizaako olunaku lw'abavubuka mu Ssabagabo n'asuubiza abavubuka okubaleetera enkulaakulana mu kitundu kyabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});