Bya Eric Yiga
ABANTU ababeera ku mwalo gw'e Mawoto mu ggombolola y'e Mpatta mu disitulikiti y'e Mukono bali mu kusattira olw’ekirwadde ky’akafuba okweyongera mu kitundu ne balaajanira abakulembeze baabwe okuvaayo ku nsonga eno.
Okusinziira ku ssentebe w'ekyalo kino, George William Lwanga ekirwadde kino kyeriisa nkuuli mu kitundu kyabwe.
Agamba nti kuno kwegattiddwaako n’ebilwadde ebirala, kyokka nga bakyalina okusoomozebwa olw’obutabeera na ddwaaliro lya gavumenti mu kitundu ng’ate eddala eriri ku mutendera gwa Health Center 111 erisangibwa e Kabanga liri wala nnyo ekiwadde omukisa ekirwadde kino okubatigomya.
Bano basinzidde mu lusiisira lw'ebyobulamu olukubidddwa mu kitundu kino okujjanjaba abakadde n’abalina obukosefu era ng'eddwadde okuli; akafuba, akawuka akaleeta mukenenya, sukaali, puleesa zisoosowaziddwa.
Omubaka W'ekitundu Fred Kayondo Ne Banne
Abatuuze bagamba nti ekisinga okubamalamu amaanyi kwe kwewaliriza oluusi ne batambuza ebigere okugenda mu ddwaaliro lino kyokka abasawo ne babategeeza nga bwewatali ddagala.
Richard Omolo ono nga yakulira abasawo b’oku byalo ( VHT) mu ggombolola agamba nti obumu ku buzibu bwe basinze okusanga be basawo obutakomyawo ebivudde mu musaayi, ate abamu baweebwa bifu.
Beemulugunya nti n’abajja okuwa abantu obujjajjabi balwawo okudda ate olumu n’entambula emanyi okukaluba ekiviirako n'obulwadde okukona.
Omu Ku Bakadde Abeetabye Mu Lusiisira Lw'ebyobulamu Ng'aliko By'annyonnyola Omusawo.
Omolo akirambise ng'okugabana eccupa, enseke z’amalwa n’ebiringa ebyo bye bimu ku bivuddeko ekirwadde ekirwadde ky'akafuba okweriisa enkuuli.
Fred Kayondo, nga ye Mubaka w’ekitundu kino m upalamenti abasuubiza nga bw’agenda okubanja gavumenti eddwaaliro wabula n'abasaba okukwatira awamu bateme evvuunike okutandika eddwaaliro.
Kayondo ategeezezza nti okusinziira ku lipooti y’abasawo, abantu abakebeddwa eddwadde ezisinga ezizuuliddwa zeekusa ku mazzi amajama.
Ono ategeezezza nti n’ekirwadde ky’akafuba bwe kyeyongedde naye nga kyekuusiza ddala ku kawuka akaleeta mukenenya bw'atyo n’abakubiriza obutaggwamu ssuubi bejjanjabise.