Imam Kiyemba bamuguddeko emisango emipya ne bamusindika mu kkooti enkulu.

Dec 15, 2022

Kkooti ya Buganda Road esindise mu kkooti enkulu Imam Jamal Kiyemba eyasibwako mu kkomera lya Guantanamo bay ku misango gy'okukolagana n'omutujju Osama Bin Laden.

NewVision Reporter
@NewVision

Kkooti ya Buganda Road esindise mu kkooti enkulu Imam Jamal Kiyemba eyasibwako mu kkomera lya Guantanamo bay ku misango gy'okukolagana n'omutujju Osama Bin Laden.

Kiyemba abadde avunaanibwa omusango gumu naye olw'aleero olumutusizza mu kkooti oludda oluwaabi ne lukola ennongosereza ne bamwongerako emisango ebiri okuli okuyingiza abantu mu kabinja ka batujju ka ADF n'okubanoonyeza obuyambi awamu ne gibeera emisango 3 okuli n'ogwokubeera memba wa ADF gweyasooka okuvunaanibwa.

Obujulizi bulaga nti Kiyemba yali mukatoliki nga ye Tonny Kiyemba naye bweyagenda e Bungereza yakyusa eddiin n'afuuka omusiramu era n'agenda mu Afghanistan okwegatta ku Bin Laden wabula ne bamukwatira mu Pakistan ne banisiba okumala emyaka 4 mu kkomera lya Guantanamo Bay.

Kigambibwa nti bwebamukomyawo mu Uganda yegatta ku Jamil Mukulu owa ADF natandika okuyingiza abantu mu ADF omwali ne mutabani we Jamal Abdallah Buyondo.

Obujulizi bulaga nti Kiyemba bamukwatira mu takisi nga agenda e Jinja oluvanyuma lwokulabako ku Ben Kiwanuka street nga awogganira abantu abagamba bawaggire ADF era olwakebera essimu ye nebasanga nga abadde ayogera nabatujju ba ADF abali mu kunoonyereza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});