ABAWAGIZI ba Bukedde abawangudde mu bitundu by'e Nateete ne Busega babuze okufa essanyu bwebewangulidde eby'assava mu kazannyo ka Gabula Ssekukkulu!
Bano okubadde;Kakembo Enock nga muvuzi wa Bodaboda e Nateete ne Ibra Ssebuyira basangiddwa nga bawuliriza Bukedde nga eno Simon Maseruka owa Bukedde Fama nga bali ne Maswanku bawadde eddakiika 3 zokka okulonda ebyassava bya Ssekukkulu nga wano emisinde gyegibaddr gibeyimirira.
Kakembo Enock mu ddakiika essatu ezimuweereddwa yewangulidde Omukyere ne Bbokisi ya Ssabuuni nga ye Ssebuyira Ibra yewangulidde Enkoko,Ssukaali,Ssabuuni ne Soda nga byonna bibasasuliddwa.

Simo omukozi wa Bukedde ng'akwasa omuwuliriza a Bukedde fm embuutikizi ebirabo bya sekukkulu
Wakati mu Ssanyu bano basiimye Bukedde TV,Bukedde Olupalula ne Bukedde Fama Radio Embuutikizi olw'okubaddiza ne babagabula ettu lya Ssekukkulu.
Simon Maseruka agambye nti baakugenda mu maaso nga batalaaga ebintu eby'enjawulo nga abantu bonna abanaasangibwa nga batumbudde Bukedde Fama baakwewangulira ebyassava mu Gabula Ssekukkulu era nga wano akunze abantu okugenda mu maaso nga bajjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu akafulumira mu lupapula lwa Bukedde era n'abalabi ba Bukedde TV n'abajjukiza okugyekuumirako okusobola okuwangula.
Bo abatuuze mu bitundu by'e Busega ne Nateete,basiimye Bukedde okukyalako mu bitundu byabwe ne bagaba ebirabo eri abantu bebamanyi obulungi nga bagamba nti abamu basuubira mpewo nti naye Bukedde bw'esuubiza etuukiriza.