Omumbejja Nassolo y’abadde omugenyi omukulu ng’ennyimba z'Amazaalibwa ga Yesu ziyimbibwa e Mmengo
Dec 16, 2022
ENNYIMBA z'amazaalibwa ga Yesu ziyimbiddwa mu maaso e Bulange - Mmengo. Omumbejja Dorothy Nassolo y’abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Dickson Kulumba
ENNYIMBA z'amazaalibwa ga Yesu ziyimbiddwa mu maaso e Bulange - Mmengo. Omumbejja Dorothy Nassolo y’abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno.
Omulundi guno, ab’ekkanisa ya Uganda be bakulembeddemu okusaba ng'ekiikiriddwa Omulabirizi w'e Mukono eyawummula Paul Eria Luzinda Kizito.
Katikkiro Mayiga Ng'abuuza Nnalinya Nassolo
Bp. Luzinda Ng'asabira Omukolo.
Kkwaaya Y'abakozi B'obwakabaka
Abamu Ku Baminisita Ku Mukolo
Nnaalinya Nassolo Ng'abuuza Ku Nnalulungi W'ebyobulambuzi Mu Uganda, Sydney Nabulya Kavuma
Abamu Ku Bakozi Mu Bwakabaka
Kkwaaya Ya St. Stephen Lungujja Ng'eyimba.
Kkwaaya Y'abaweereza B'obwakabaka
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Bannalinnya okuli: Nnalinya Lubuga Dr. Agnes Nabaloga, Dina Kiga, Sarah Kagere. Abalangira Daudi Ggolooba, Kintu Wasajja, abakulu b'ebitongole bonna beetabye ku mukolo guno.
No Comment