‘Okutwalibwa kw’Omulangira Mutebi e Bungereza kwali kwa kyama’
Mar 14, 2025
NGA tujaguza amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, BUKEDDEakyakutuusaako emboozi ennyuvu ezikwata ku kukula n’obulamu bwa Kabaka okutuuka ku myaka 70, okutuusa ku mazaalibwa ge nga April 13. Leero VIVIENNAKITENDE akuleetedde Hamim Ssentongo ng’anyumya enteekateeka ez’okutwalaOmulangira Mutebi e Bungereza ne bwe zaali ez’ekyamaOMULANGIRA Ronald Muwenda Mutebi II okutwalibwa e Bungereza okusoma embeera yali etandise okutabanguka wano, Muteesa n’asalawo okutandika okugabanya abaana be okubategula ekibabu ekyali kitandise okulaga obubonero.

NewVision Reporter
@NewVision
NGA tujaguza amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, BUKEDDE
akyakutuusaako emboozi ennyuvu ezikwata ku kukula n’obulamu bwa Kabaka okutuuka ku myaka 70, okutuusa ku mazaalibwa ge nga April 13. Leero VIVIEN
NAKITENDE akuleetedde Hamim Ssentongo ng’anyumya enteekateeka ez’okutwala
Omulangira Mutebi e Bungereza ne bwe zaali ez’ekyamaOMULANGIRA Ronald Muwenda Mutebi II okutwalibwa e Bungereza okusoma embeera yali etandise okutabanguka wano, Muteesa n’asalawo okutandika okugabanya abaana be okubategula ekibabu ekyali kitandise okulaga obubonero.
Hamim Ssentongo, akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kyankwanzi, yaliko Ssentebe
wa disitulikiti y’e Kiboga nga Kyankwanzi tennakutulwako. Agamba nti, yali ku lusegere lw’Obwakabaka. Anyumya nti, wadde yali muto ebiseera ebyo, alina bye yalaba ne bye yamanyaako.
“Ebyafaayo ebirala bye mmanyi ku buzaale bwa Ssaabasajja Kabaka Mutebi nabiggya ku ssenga wa mukyala wange, kati omugenzi Manjeeri Namagembe Kaddu, eyali Nanzigu wa Ssekabaka Muteesa II, (eyali Lubuga wa Ssekabaka Muteesa II) yaziikibwa mu Masiro e Kasubi,” Ssentongo bw’agamba.
ENTEEKATEEKA ZAALI ZA KYAMA
Abakungu b’e Mmengo ab’omunda ennyo be baali mu nteekateeka z’okutwala Omulangira Mutebi e Bungereza okusoma, naye nga kyava ku kavuyo akaaliwo ebiseera
ebyo ak’okuwaηηanguka kwa Muteesa mu 1966 akaali katandise okweyoleka.
Ebiseera ebyo nnali muto naye nzijukira nti, Omulangira Mutebi yagenda e Bungereza wakati wa 1963 oba 1964, eyali Katikkiro wa Ssekabaka Muteesa II, Mayanja
Nkangi ye yali mu nteekateekan’abakungu ab’omunda, entegeka zonna zaali za kyama
abaakimanyaako baali batono ddala.
Ebiseera ebyo nnali nsomera ku Aggrey Memorial e Bunnamwaya nga mbeera
Nakulabye, naye mu ggwanga waaliwo obunkenke, ng’ebitongole bya Buganda
byonna biri mu kutya olw’embeera za Obote ezaali zikyuuse ng’ayagala okwefuulira
Muteesa amutwaleko entebe y’obukulembeze bw’eggwanga. Muteesa yatandika
okwekengera ku kiyinza okuddirira. Nga Palamenti eri mu kavuyo, waliwo
n’eyaleeta ekiteeso nti, ekibuga ky’eggwanga ekikulu Obote akiggye ku ttaka lya Buganda bw’aba tagyagala akitwale ewaabwe, ne kyongera okusajjula embeera eri Buganda.
Awo Muteesa n’afuna ekirowoozo okuggya abamu ku baana be mu ggwanga abatwale
mu bitundu eby’enjawulo. Okugenda kwa Mutebi e Bungereza omukka gwali gutandise okunyooka nti, osanga wanaabalukawo olutalo, era yali yaakagenda ebbanga si ddene
Olubiri ne lulumbibwa Muteesa n’awaηηanguka
Enjuki ze zaakozesebwanga nga ttiyagaasi kati
E Nakulabye we twabeeranga, nga watandise okubaawo enkiiko naye nga bazigootaanya ne baziyenjebula, nzijukira olukiiko olwali e Nakulabye, lwe baakuba kati awali akatale k’e Nakulabye, waaliwo omusajja yali wa Dp yayitibwanga Mulindwa Nsi’eribetya eyalutuuza.
Olukiiko lwa DP eyali ekulirwa Ben kiwanuka luno lwakubibwa wakati wa 1963 ne 1964, nga tewannabaawo kavuyo, ab’ekibiina kya Kabaka Yekka abaali bakulirwa
Ernest Majeje Nsi’eribetya ng’erimu ne UPC nga tebaagala DP erukubewo.
Aba Kabaka Yekka abaalwanyisa olukiiko kye baaleeta nga ttiyagaasi, baaleeta mizinga gya njuki, bwe baatuuka awali olukiiko ne bazisumulula ne ziyingira abantu ne babuna emiwabo, era olukiiko ne lwabuka.
Ku kavuyo ako, Muteesa n’atandika okulaba obubonero nti, mu maaso gye tugenda si byangu, awo entegeka z’okutwala Omulangira Mutebi e Bungereza ne
zitandika nga za kyama.
Wabula okugenda kwe bangi twakuwulira buwulizi, era twakumanya luvannyuma nnyo, naye kye nzijukira, oluvannyuma abaana b’abaami okwali; omugenzi Chris Kanakulya (omwana wa muganda wa Muteesa, nga nnyina ye yali Damalie Njuki
yali munnamawulire wa UTV) nga bano baali mikwano gyange abannyumiza nti,m nabo baatwalibwa ne basoma naye e Bungereza.
Obukuumi bw’omuganda ow’edda kwabanga kusirika, era kyabawanguza bingi, era bwekityo bwe kyali ku Mulangira Mutebi ng’atwalibwa e Bungereza okusoma. Abaakimanya baakisirikira olw’embeera eyali etandise okufuukuuka mu
ggwanga.
N’Abalangira abalala bangi baabatwala oluvannyuma mu 1973 nga Muteesa amaze okukisa omukono ne basangayo Omulangira Mutebi ne bannaabwe abalala
okwali Nnaalinya Sarah Kagere.
Abaganda abasinga okumanya okugenda kw’Abalangira n’Abambejja e Bungereza, baakitegeera mu kukomyawo njole ya Ssekabaka Muteesa eyo mu gye 70, ng’Olubiri batandise okululongoosa kwe kumanya ebifa ku baana b’embuga.
Ebiseera ebyo okugenda e
Bungereza nga teweetaaga Visa, okuggyako okubeera ne ssente n’omuntu akuyita gw’ogenda okusanga eri. Anti era abantu tebaalinanga ssente zitambula ate nga n’eri tebalinaayo bantu gye batuukira nga bweguli leero.
Abasinga baakubanga masimu ku Post Ofi isi n’oyogera n’omuntu akwetaaga, nga tusimba layini, waaliwo ne gye twayitanga ‘Reverse all’, nga bakukubira ne boogera naawe naye ng’oli akubye ajja kusasulira eri bw’oba nga ggwe
gw’akubidde tolina ssente.
Ennyonyi ezaaliwo ebiseera ebyo zaali za East African Airways, era nteebereza Omulangira Mutebi mwe yagendera e Bungereza, Muteesa agenda okuwaηηangusibwa mu 1966, abaana be abamu yabasangayo.
Ssaabasajja Kabaka mmuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 70 era
mmwaagaliza buwanguzi bwereere mu bulamu. e ffe ab’e Kiboga twasanyuka nnyo, nga yaakatuuzibwa ku Nnamulondo mu 1993, kuba yasooka kukyalako waffe Kiboga nga nze Ssentebe wa disitulikiti eyo, ebbanga lyonna mmubadde ku
lusegere. Mmwebaza obutasosola mu mawanga kuba asembeza buli muntu, abajjanjabye bulungi n’abawa enkulaakulana
No Comment