Amawulire

Amalwaliro ge Mpigi getaaga bujjanjabi!

SSENTEBE wa Mpigi avudde mu mbeera n'atabukira amaggye lwa kulemererwa kuzimba malwaliro ga gavumenti ng'ate gaweebwa ssente obukadde 350,000,000/ omwaka gwebyensimbi oguwedde.Ssentebe wa disitulikiti ye Mpigi Martin Ssejjemba avudde mu mbeera n'atabukira ekitongole ky'amagye ekyaweebwa pulezidenti we ggwanga olukusa okuzimba ebizimbe bya gavumenti ne balemererwa ng'ate baweebwa dda ensimbi ezisoba mu bukadde 350.

Ebituyli ebiri mu siringi y'eddwaliro lye Bunjakko
By: Paddy Bukenya, Journalist @New Vision

SSENTEBE wa Mpigi avudde mu mbeera n'atabukira amaggye lwa kulemererwa kuzimba malwaliro ga gavumenti ng'ate gaweebwa ssente obukadde 350,000,000/ omwaka gwebyensimbi oguwedde.

Ssentebe we Mpigi Martin Ssejjemba ng'alga ebituli ebiri mu ddwaliro

Ssentebe we Mpigi Martin Ssejjemba ng'alga ebituli ebiri mu ddwaliro

Ssentebe wa disitulikiti ye Mpigi Martin Ssejjemba avudde mu mbeera n'atabukira ekitongole ky'amagye ekyaweebwa pulezidenti we ggwanga olukusa okuzimba ebizimbe bya gavumenti ne balemererwa ng'ate baweebwa dda ensimbi ezisoba mu bukadde 350.Ssejjemba okuva mu mbeera kiddiridde okulambula amalwaliro agabadde galina okuzimbibwa mu mwaka gwa 2022 n'agasanga nga gali mu mbeera mbi kyokka nga ensimbi ezirina okugaddaabiriza disitulikiti yazisasula dda. 

Eri ku ddwaliro eri mu Mpigi eryetaaga obujjanjabi

Eri ku ddwaliro eri mu Mpigi eryetaaga obujjanjabi

Mu kiseera kino amalwaliro agamu tegalina kabuyonjo, siiringi zaagwaamu, abalwadde tebalina webatuula, agamu gatonnya eddagala ne litoba gattako okubeera mu mbeera embi nga getaaga kuddaabirizibwa.Ssejjemba ategeezezza nti amalwaliro okuli erya Bunjako Health Centre III, Buwama Health Centre III, Kampiringisa Health Centre III, Ggolo Health Centre III, Kafumu Health Centre III, Butoolo Health Centre III ne Nindye Health Centre III gattako okudaabiriza ofiisi yakulira ebyobulamu gegabadde galina okuddabirizibwa, okuzimba n'okugawa kaabuyonjo empya naye tewali kikoleddwa mu mwaka oguwedde ekizingamizza empeereza mu byobulamu.

Martin ng'ali n'abakulira eddwaliro lye Bunjakko

Martin ng'ali n'abakulira eddwaliro lye Bunjakko

Atwala ebyobulamu ku lukiiko lwa disitulikiti olufuzi Benon Nsamba ategezezza nti wadde nga ne mpeereza y'abasawo mu mwalwaliro ga gavumenti ekyali mbi naye embeera yamalwaliro gano esusse era n'asaba pulezidenti Museveni okuggyawo amaggye bwegaba galemereddwa distilikiti zibafunire ba kontulakita abazimba mu budde.

Tags: