Amawulire

Embeera y’amalwaliro g'e Mpigi etabudde ssentebe

SSENTEBE wa Mpigi avudde mu mbeera n’atabukira amagye lwa kulemererwa kuzimba malwaliro ga gavumenti ng’ate baaweebwa 350,000,000/-.

Embeera y’amalwaliro g'e Mpigi etabudde ssentebe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Martin Ssejjemba okuva mu mbeera, kiddiridde okulambula amalwaliro agaabadde galina okuzimbibwa n’asanga nga gali mu mbeera mbi kyokka ng’ensimbi ezirina okugaddaabiriza, disitulikiti yazisasula.

Amalwaliro agamu tegalina kaabuyonjo, siiringi zaagwamu, agamu gatonnya eddagala ne lyonooneka. Akulira ebyobulamu mu Mpigi, Margaret Nannozi yategeezezza ng’okuddaabiriza amalwaliro bwe kwatandise.

Ssejjemba yategeezezza nti amalwaliro okuli; Bunjakko Health Centre lll, Buwama Health Centre lll, Kampiringisa Health Centre lll, Ggolo Health Centre lll, Kafumu Health Centre lll, Butoolo Health Centre lll ne Nindye Health Centre lll ge gabadde galina okuddaabirizibwa, n’okuzimba kaabuyonjo empya naye tewali kikoleddwa.

Atwala ebyobulamu ku lukiiko lwa disitulikiti, Benon Nsamba yasabye Pulezidenti okuggyawo amagye disitulikiti zeefunire bakontulakita.

Tags: