Bya Denis Kizito
ABAKULEMBEZE ba Town Council y’e Kyengera nga bakulembeddwaamu mmeeya, Mathias Walukagga baggadde ekirombe ky’amayinja ekyabumbulukuse ku kyalo ne kyonoona ennyumba z’abatuuze.
Ekirombe kino ekyabumbuluka ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, kisangibwa ku kyalo Maggwa e Buddo era nga kyalese amayumba g’abantu abasoba mu gazzeemu enjatika ez’amaanyi.
Walukagga ategeezezza nti ye ng’omukulembeze abadde tayinza kutunula butunuzi ng’embeera egenda mu maaso, nti era nga bwe yafunye amawulire gano ye n’olukiiko lwe baasazeewo okukiggala kuba kya bulabe nnyo eri obulamu bw’abantu abakiriraanye.
Ezimu Ku Nnyumba Z'abantu Ezoolekedde Okugwaamu Oluvannyuma Lw'ekirombe Okuyimbulukuka.
Walukagga agumizza abantu b’omu kitundu kino nga bw’agenda okukwatagana ne poliisi bakwate nnannyini kirombe kino ategeerekeseeko nga Moses Kigongo avunaanibwe olw’okuteeka obulamu bw’abantu mu matigga..
James Kibirige, ng’ono ye ssentebe w’ekitundu omuli ekirombe kino ategeezezza nti yali yayimiriza dda mukulu Kigongo obutaddamu kukozesa kirombe kino nti wabula ekyamuggya enviiri ku mutwe teyamuwuliriza era yagenda bugenzi mu maaso nakusima bw’atyo ne yeebaza Walukagga okuvaayo n’akiggala.
John Ssemakula, omu ku batuuze abaakosebwa okuyimbuluka kw’ekirombe kino ategeezezza nti mu kaseera kano bali mu kutya kubanga obulamu bwabwe n’abaana baabwe buli mu matigga kuba ekirombe kino kyaleseewo ekiwonko eky’amaanyi nti ng’omuntu yenna agwaayo tasobola kusigaza bulamu.