Ab’e Kitemu bazingizza ababbi ne babakuba

May 03, 2025

ABAZIGU ababadde babagalidde ebissi bayingiridde ekibanda kya  beetingi ne banyaga ssente ezitategeerekese muwendo.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAZIGU ababadde babagalidde ebissi bayingiridde ekibanda kya  beetingi ne banyaga ssente ezitategeerekese muwendo.
Obunyazi bubadde Kitemu mu Kyengera Town Council mu kiro ekyakeesezza Olwokuna.
Wabula kigambibwa nti babadde  tebannamaliriza munyago abatuuze ne babagwamu ne bakwatako  babiri ne babakuba emiggo nga  poliisi y’e Nsangi egenze okutuuka m kifo nga basigaddeko kikuba mukono.
John Mubiru, owa bodaboda mu  kitundu kino, yategeezezza nti babadde ku siteegi we bakolera ne  bawulira enduulu ku kizimbe kino  wabula ababbi abamu olulwabye ga babaguddemu ne badduka kiwalazzima.  Omwogezi wa poliisi mu Kampala
n’emiriraano, Patrick Onyango   yategeezezza nti ababbi bano 7 babadde
n’ebijambiya.
Olwatuus mu kifo ne basiba abakozi bonna emigwa  ne batandika okubakanda ssente
nti wabula omu ku bakasitooma  ategeereekese nga,
George Nkesiiga bw’atuuse mu kifo kino n’asanga nga bali ku miguwa  era naye babadde bagezaako okumukwata n’abeesimattulako nga ye yakubye enduulu eyasombodde abantu. Abaakwatiddwa baatwaliddwa mu ddwaaliro okujjanjabibwa nga
bwe banaatereeramu bagenda  kubayamba okunoonyereza ku bannaabwe abadduse.
Mathias Walukagga, sentebe wa Kyengera Council yategeezezza nti ekizibu ekiriwo nti abav  buka bangi tebaagala kukola nga kati balowooza kya kubba. Yagumizza abatu ze nga bw’agenda okukolagana ne poliisi okuzuula ababbi abalala abaalumbye ekifo kino.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});