Ab’e Kitemu bazingizza ababbi ne babakuba
May 03, 2025
ABAZIGU ababadde babagalidde ebissi bayingiridde ekibanda kya beetingi ne banyaga ssente ezitategeerekese muwendo.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAZIGU ababadde babagalidde ebissi bayingiridde ekibanda kya beetingi ne banyaga ssente ezitategeerekese muwendo.
Obunyazi bubadde Kitemu mu Kyengera Town Council mu kiro ekyakeesezza Olwokuna.
Wabula kigambibwa nti babadde tebannamaliriza munyago abatuuze ne babagwamu ne bakwatako babiri ne babakuba emiggo nga poliisi y’e Nsangi egenze okutuuka m kifo nga basigaddeko kikuba mukono.
John Mubiru, owa bodaboda mu kitundu kino, yategeezezza nti babadde ku siteegi we bakolera ne bawulira enduulu ku kizimbe kino wabula ababbi abamu olulwabye ga babaguddemu ne badduka kiwalazzima. Omwogezi wa poliisi mu Kampala
n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti ababbi bano 7 babadde
n’ebijambiya.
Olwatuus mu kifo ne basiba abakozi bonna emigwa ne batandika okubakanda ssente
nti wabula omu ku bakasitooma ategeereekese nga,
George Nkesiiga bw’atuuse mu kifo kino n’asanga nga bali ku miguwa era naye babadde bagezaako okumukwata n’abeesimattulako nga ye yakubye enduulu eyasombodde abantu. Abaakwatiddwa baatwaliddwa mu ddwaaliro okujjanjabibwa nga
bwe banaatereeramu bagenda kubayamba okunoonyereza ku bannaabwe abadduse.
Mathias Walukagga, sentebe wa Kyengera Council yategeezezza nti ekizibu ekiriwo nti abav buka bangi tebaagala kukola nga kati balowooza kya kubba. Yagumizza abatu ze nga bw’agenda okukolagana ne poliisi okuzuula ababbi abalala abaalumbye ekifo kino.
No Comment