Balumbye essundiro ly’amafuta ne batta abakuumi
May 03, 2025
Abatemu balumbye abakuumi ku ssundiro ly’amafuta ne babatema ne bababbako ssenten’emmundu

NewVision Reporter
@NewVision
Abatemu balumbye abakuumi ku ssundiro ly’amafuta ne babatema ne bababbako ssente
n’emmundu.
Bino byabaddewo ku kiro ekyakeesezza Olwokuna ku kyalo Kazinga ekisangibwa mu muluka gw’e Kyetume ku luguudo lw’e Katosi mu ggombolola y’e Nakisunga
mu Mukono.
Abaalumbiddwa baabadde bakuuma ku ssundiro ly’amafuta erya Chard Energy. Abattiddwa kuliko; Deo Ssenabulya (65) ne Enyati Joseph (19) nga baabafumisefumise ebiso ne bababbako emmundu ekika kya AK47 ne bakuuliita nayo.
Olwamaze ne bakkakkana ku bakozi abatunda amafuta ne babakuba n’okubanyagako ssente zonna ze baabadde bakozeewo.
kifo kino nga kijjudde ebitaba by’omusaayi, era poliisi emirambo yagitadde ku kabangali yaayo n’egitwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.
Poliisi n’amagye beekebezze ekifo n’awaliraanye okukkakkana nga bagudde ku mmundu Kye bagamba eybadde ebbiddwa ku bakuumi nga baasanze yasuuliddwa ku
luguudo lw’eggaali y’omukka.
Maneja w’essundiro ly’amafuta lino, Richard Kigule yannyonnyodde nti, baamukubidde essimu ku ssaawa 10:00 ez’ekiro nga bamutegeeza nti abakuumi babasse.
Abatuuze mu kitundu baategeezezza nti beeraliikirivu olw’obutemu obususse mu kitundu
No Comment