Okukuza Amatikkira ga Kabaka aga 32;Kabaka agaba amayinja ag’omuwendo okusitula bannabitone

OMULEMBE Omutebi gwolese eri Obuganda obukulu bw’ebitone mu kukulaakulanya eggwanga.

Ssaabasajja Kabaka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULEMBE Omutebi gwolese eri Obuganda obukulu bw’ebitone mu kukulaakulanya eggwanga.
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima ku mikolo kw’abeera alabikidde eri Obuganda, okusanyusibwa bannabitone. Omukwano guno gw’alina eri bannabitone, nabo baguzzizza nga bayimba ennyimba ezimusuuta ate n’ezisuuta Obuganda.
Ku nnyimba zino kuliko “Ekitiibwa kya Buganda” olwa Afrigo Band olulombojja byonna ebyayitibwamu mu lugendo lw’Amatikkira ga Kabaka mu 1993.
Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yayimba Nyimbira Kabaka Wange, Mathias
Walukagga ayimbye ennyimba eziwera omuli n’olwo oluyitibwa Amannya ga Kabaka 72.
Abalala okuli; Mesach Ssemakula, Geoffrey Lutaaya, Joseph Mayanja (Chameleon),
Buddo SS n’abalala bayimbye ennyimba ate nga zonna zikunga abantu okwekuumira ku
Buganda.
Ebitone bino Kabaka abitadde waggulu kuba okusiima ne bimusanyusa naddala ku
mazaalibwa ge, kabonero ke bagamba mu njogera y’ennaku zino nti, abiwanise kubanga ensi yonna ebeera ebiraba. Kabaka muwuliriza wa nnyimba z’abayimbi aba wano, era
emirundi mingi azze anokolayoennyimba z’abayimbi z’awuliriza
mu biseera bye eby’eddembe ne bw’abeera ng’akola dduyiro. Kabaka asiimye abayimbi
bangi n’amayinja ag’omuwendo olw’obuweereza bwabwe eri Obwakabaka.
Kino akikolera mu nkola ye ey’okusiima abaweereza obulungi Obwakabaka, ebeerawo buli mazaalibwa ge lwe gatuuka. Munnabitone era omuyiiya w’ennyimba ezitumbula
Obwakabaka, Paul Ssaaka
agamba nti, Kabaka abadde ‘mmo’ mu kwagazisa abantu be okutumbula ebitone byabwe aten’okubikozesa mu ngeri eganyula. “Kabaka bwe yansiima
kyaleetera abayiiya n’abayimbi abato okwongera okunoonyereza mu kuyiiya, ate n’abayimbi ne beeyongera amaanyi,” Ssaaka eyasiimibwa mu 2015 bw’agamba. Mu 2006, Kabaka yasiima Empaka eziyitibwa BugandaRoyal Arts Shield F  stivalzitandikibwe.
Mu zino, amasomero gawakanira Engabo ez’enjawulo wakati mu baana b’amasomero
okwolesa ebitone.
Aloysius Matovu Joy, munnabitone era omu ku baali emabega w’okutandikibwa
kw’empaka zino agamba nti, zikoze kinene okuwa abaana omukisa nga bakyali mu
masomero okuzuula ebitone byabwe mu kuyimba, katemba n’emizannyo.
“Empaka zino nga tezinnatandikibwa, ensonga y’ebitone abantu baali bagikomya
ku mupiira, kubaka n’emizannyo egimu naye ebitone okuli; okuyimba ne katemba n’ebiraala nga birabibwa nga bya bulijjo,” Matovu bw’anyumya. Ayongerako nti, ebitone bingi mu biti eby’enjawulo bizuuliddwa kyokka ng’ekyetaaga
okwongeramu, kwe kuteekawo enkola esobozesa okubirondoolaokuvaamu ebirungi.
KABAKA ATANDIKA MINISITULE Y’EBITONE
Mu 2023, Kabaka yasiima minisitule eyali ey’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza
efuuke ey’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone era mu nkyukakyuka eno n’ekwasibwa
Ssaalongo Robert Sserwanga.
Minisita Sserwanga agamba nti, Obwakabaka bumaliridde okwongera okuwagira bannabitone, bakulaakulane.
“Kino okirabira mu nnyaniriza eweebwabannabitone nga bazze e Mmengo okukiika ate tetukoma kw’ekyo, Katikkiro abeera ku bivvulu byabwe, okubawagira kubanga
nabo bakola omulimu munene ku kuzimba Obuganda nga bayita mu
nnyimba ezibuulirira,” Sserwanga bwe yannyonnyodde.
Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yali akyazizza omuyimbi Loodi Fred Ssebatta, yakiggumiza nti, okuyimba mulimu nga emirimu emirala noolwekyo basaanye okukitwala nti, kya muwendo.
Laeticia Nakimuli, akwanaganya ebyenjigiriza mu Buganda agamba nti, empaka z’ebitone eza ‘Brashfest’ ziyambye okusomesa olulimi Oluganda, abayizi okuzuula ebitone byabwe, n’okuyiga ebintu eby’enjawulo, okugeza ebigambo, emizannyo