Kalidinaali Peter Turkson akunze Bannayuganda okukuuma obutonde bw'ensi

Cansala wa Akademe ya Paapa eya Ssayansi, (Pontifical Academy of Sciences), Omutiibwa Kalidinaali Peter Turkson asabye Bannauganda okwongera amaanyi mukukuuma obutonde bw’ensi, okusobola okutangira embeera embi, ebirwadderwadde, n’enkyukakyuka y’obudde.

Kalidinaali Peter Turkson akunze Bannayuganda okukuuma obutonde bw'ensi
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Cansala wa Akademe ya Paapa eya Ssayansi, (Pontifical Academy of Sciences), Omutiibwa Kalidinaali Peter Turkson asabye Bannauganda okwongera amaanyi mukukuuma obutonde bw’ensi, okusobola okutangira embeera embi, ebirwadderwadde, n’enkyukakyuka y’obudde.

Y’asiimye Abepiskooi ba Uganda olwa kaweefube gwebatadde mukukuma obutonde bwensi, wabula n’abasaba bongere  amaanyi, era bafeeyo okumanya Abepiskoopi bannaawbe ab’ensi endala byebakola, babyeyambise okwongera amaanyi mu ntereeza zaabwe.

Ssaabasumba Pual Ssemogerer ne bannaddiini abalala

Ssaabasumba Pual Ssemogerer ne bannaddiini abalala

“Ensi eno ffenna geemaka gaffe mwetuwangaalira. Awo nno tugalabirire bulungi. Ate era tukolagane naabo bonna abalwaanirira obutonde bw’ensi, okugeza bannaffe Abasodokisi, n’Abasiraamu.,” bw’atyo bweyategeezezza.

Y’abadde aggulawo olukungaana olukwata kukukuuma obutonde bwensi, Laudato Si Africa Conference, oluyindira mu Bethany Land Institute e Nandere, mu Gombolola y’e Nyimbwa, mu disitulikiti y’e Luweero, ku Lwokusatu nga July 23, 2025.

Kalidinaali Turkison y’ategeezezza nti nti buli muntu alina obuvunaanyizibwa okukuma obutonde bw’ensi,  n’anenya abo abamala gatema emiti n’ok’wonoona ennyanja n’emigga, n’abamala gayiikuula eby’obugagga eby’omuttaka. Y’ategeezezza nti okufuga ensi tekitegeeza kugyonoona, wabula okwongera okugyifuula ennungi.

Dl 1

Dl 1

Pulezidenti wa Bethany Land Institute Uganda, Fr Polofeesa Emmanuel Katongole yategeezezza nti olukungaana luno lw’ategekeddwa okusobozesa abalulimu okwebuulirira ku birowoozo bya Paapa Francis kukukuuma obutonde bw’ensi, byeyateeka mu bbaluwa ye, Laudato Si (Lulatini, Otenderezebwe), gyeyawandiika emyaka 10 egyiyise, okukubaganya ebirowoozo ku ngeri ebbaluwa eno gyeteekeddwa mu nkola mumawanga g’olukalu lw’Africa, ate n’okujjukira n’essanyu obukulembeze bwe obw’ettendo.

Ssabasumba Paulo Ssemogerere y’asiimye Fr Polofeesa Emmanuel Katongle ne Bethany Land Institute, n’ababagabirizi b’obuyambi olw’omulimo omulungi gwebakoze, n’addala okuzzaawo ekibira ky’e Nandere ekyali kisaanyiziddwawo.

Omwepiskoopi w’e Kasana-Luweero, Laurence Mukaksa n’aye y’asiimye Polofeesa Katongole.

Olukungaana lwetabiddwamu abagenyi abaavudde  mu mawanga ga Bulaaya, Africa, America ne Asia, abasukka mun 100.