KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II amaliriza okuzza obuggya olukiiko lw’embuga ye ejjulirwamu emisango gy’ebika nga kino kigenda kwanguya okugiwulira.
Ebika n’abazzukkulu bangi babadde bemulugunya nti emisango girwa nnyo mu mbuga ya Kabaka eyitibwa embuga ya Ssalambwa ng’eno y’ejjulirwamu meisango singa embuga ya Kisekwa bwebeera ewadde ensala kyokka asingisiddwa n’atamatira.
Katikkiro n'abagenyi e Mengo
Amawulire gano gayasanguziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bweyabadde atongoza olukiiko lw’Embuga ya Kisekwa esala emisango gy’ebika e Bulange ku lwokusatu July 23, 2025 n’agamba nti kati emisango gigenda kwanguwa okusalibwa oluvanyuma lw’olukiiko lwa Kabaka okuzzibwa obuggya n’okutandika okukola.
“Kabaka alina olukiiko olumuwa amagezi, bwamala okusoma ensala, Kisekwa gyaaba awadde. Oluusi ye Bbeene ayinza okusalawo nga bwabeera alabye, oluusi ayinza okwebuuza,” Mayiga bweyayogedde.
Yayongedde n’ategeeza nti “ Kati olukiiko olwo lweyebuuzaako lubaddeko abantu ng’abamu bakosefu, abamu batugenzeeko naye kati Bbeene olukiiko olwo yaluzizza buggya, olumuwa amagezi ku nsonga ezo era baatandise okwekenenya ensonga eziri mu mbuga ya Ssalambwa, Bbeene zabeera abawadde.”
Embuga eno ekulirwa Dr. Robert Ssonko ng’amyukibwa Salim Makeera. Bammemba abalala ku lukiiko lw’embuga eno kuliko; Lubega Ssebende (Omuwandiisi w’Olukiiko), Andrew Kibaya, Jamil Ssewanyana, Samwiri Walusimbi ne Dan Kyagaba. Bano baatandika obuwereeza ku ntandika y’omwaka guno.
Dr. Ssonko mu kusooka yabuulidde nga bwebafunye okwemulugunya kungi nti emisango mingi gisalibwa kyokka ekisembayo okuva ewa Kabaka n’ekirwawo okuvaayo mu mbeera nga waliwo abajjulidde ate ng’ensonga y’emu, Olukiiko olwawummula lwagireka mu Alipoota yaalwo ewaayo ofiisi.
Sk 8
Mayiga yasabye abazzukkulu mu bika okukomya eky’okutwala ensonga z’ebika mu kkooti enzungu kubanga Kisekwa esobolera ddala okuzimaliriza nga kino kyakakasibwa, kkooti enzungu.
“ Waliwo n’ensonga endala gyetwagala mutunulemu. Omusango ogujja mu mbuga eno gulina kubeerako kkomo. Oli n’aleeta omusango gwa myaka 500, ekkomo ly’emisango egireetebwa erina kuba ddi,” Mayiga bweyasabye.
Katikkiro yayongedde n’asaba Bammemba bano okulondoola enkola y’okukozesa ebitawuluuzi okugonjoola emisango ng’eno Obwakabaka bukolagana n’essiga eddamuzi erya Uganda ng’egendereddwamu okulaba ng’abantu tebamala biseera bingi mu kkooti.
Ye Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi mu Buganda, Dr. Anthony Wamala yasabye abakungu bano okuteekawo eggwandisizzo liwandiike n’okutereka kalonda yenna akwata ku bika.
Omukolo guno gwetabiddwako Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Patrick Mugumbule ate ne Minisita w’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe