Abayimbi balumbye Kenzo ku bya Philly Lutaaya

Feb 21, 2023

ABAYIMBI n’abakugu mu kisaawe ky’okuyimba beegasse ku Bannayuganda ne bassa akazito ku Eddy Kenzo (Edirisa Musuuza) olw’okwegeraageranya n’omugenzi Philly Bongoley Lutaaya.

NewVision Reporter
@NewVision

Baagambye nti ennyimba za Philly wadde nga zimaze emyaka egisoba mu 34 nga zikubwa teziva ku mulembe olw’engeri gye yaziyiiyaamu, amakulu agazirimu n’endongo gye yassaamu.

Ragga Dee (Daniel Kazibwe), omu ku baludde mu kisaawe ky’okuyimba yagambye nti ennyimba za Philly yaziwulira okuva nga muto era agamba nti y’omu ku bayimbi abaayagazisa Abaddugavu ensi yaabwe bwe yakuba oluyimba lwa Born in Africa, mu biseera by’obusosoze obungi ate nga yalukuba ali mu mawanga ga Bulaaya (Sweden). Kino kiraga obumalirivu bwe yalina era asaana okuweebwa ekitiibwa.

“Engeri Philly gye yakyusangamu amaloboozi mu nnyimba ze si buli muyimbi nti akisobola. Okugeza mu luyimba lwa Entebe Wala kizibu omuntu okuluddamu n’alutuusa lw’eddoboozi lye ezzibu, y’ensonga lwaki ennyimba ze zonna ze bazzeemu tekuli lw’ogamba nti lwagala okutuuka olulwe.”

Yagasseeko nti; Philly teyayimbanga bigambo bicamuukiriza bantu ng’abayimbi b’ensangi zino, wabula buli luyimba lwe lujjudde obubaka y’ensonga lwaki buli Ssekukkulu bw’etuuka, ennyimba ze zikubwa ekimufuula omuyimbi atalyerabirwa mu byafaayo bya myuziki mu Uganda.

Pulodyusa Paddy Man ng’amannya ge amatuufu ye Paddy Kayiwa Mukasa yagambye nti; Kyewuunyisa nti oluyimba olwakolwa emyaka 35 egiyise tulugeraageranya ku nnyimba z’ensangi zino ezimala emyezi obwezi nga ziweddeko. Wadde Kenzo muyimbi mulungi naye okwegeraageranya ku Philly yakoze kikyamu.

Philly teyali muyimbi kyokka wabula nga musomesa. Bw’owuliriza ennyimba ze nga; Nakazaana, Empisa zo ate bwe kituuka ku lwa Alone and Frightened kisukka kubanga yataasa abavubuka bangi mu luyimba olwo.

Ne bwe kaba kadongo ka Alone and Frightened kokka nga ke kakubye omuntu yenna eyabanga asumuludde zzipu yagisibirangawo kubanga ebiseera ebyo mukenenya yali mungi nnyo.

Yagambye nti ekya Kenzo okugamba nti oluyimba lwe yazzeemu olwa Born in Africa lwa kabi nnyo okusinga olwa Philly lwe yayimba olw’okuba lulabiddwa nnyo ku Youtube kikyamu, kubanga abalaba oluyimba basinziira ku ngeri gy’olusaasaanyizzaamu.

Kenzo bwe yabadde mu lukung’aana lw’abaamawulire ku Cubana e Munyonyo yategeeza nga bwe watali luyimba lwa Philly Bongole Lutaaya lusinga zize obunene.

Kyaddiridde bannamawulire okumubuuza ky’ayogera ku Bannayuganda abaamulumbye olw’okudda mu luyimba lwa Philly n’atalunyumisa.

Fiina Mugerwa Masannyalaze akola ng’omuwandiisi mu kibiina kya Uganda Musicians Association (UMA) yagambye nti ekibiina tekirina lukusa kuwa muyimbi luyimba lwa muntu yenna okuluddamu kyokka omuyimbi bw’aba alina lw’ayagala asobola okutukirira omuntu oyo eyaluyimba n’amusaba oba ffamire ye.

ENNYIMBA ZA PHILLY ZE BAZZE BADDAMU

Empisa zo - Irene Namubiru, Born In Africa - Bebe Cool, Diana - Juliana Kanyomozi, Kampala - Eddy Yawe, ne Nkowoola Omwana - Eddy Yawe

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});