Paasita attunka na misango gya bubbi

PAASITA w’oku Kaleerwe asimbidwa mu kkooti ya LDC e Makerere, mu maaso g’omulamuzi Martins Kirya n’asomerwa emisango ena egy’obubbi, okukuba omuntu n’okwonoona ebintu.

Paasita Ddamulira mu kkooti.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Paasita #misango #bubbi

Bya Paul Galiwango

PAASITA w’oku Kaleerwe asimbidwa mu kkooti ya LDC e Makerere, mu maaso g’omulamuzi Martins Kirya n’asomerwa emisango ena egy’obubbi, okukuba omuntu n’okwonoona ebintu.

Paasita Abdul Damulira 55 omutuuze wa Kibe Zooni mu munisipaali y’e Kawempe mu Kampala ye yasimbiddwa mu kkooti ku misango ebiri gy’obubbi, okukuba omuntu wamu n’okwonoona ebintu.

Okusinziira ku ludda oluwaabi nga February 26, 2023 mu zooni ya Kibe ku Kaleerwe, Damulira yakuba Godfrey Boogere n’amutuusako ebisago.

Omusango ogwokubiri oludda oluwaabi lwategeezeza kkooti nti nga February 26, 2023 mu Kibe, Damulira yabba ensawo 4 ez’obumonde nga zibalirirwamu ssente 1,800,000 n’etundubaaali nga libalirirwamu emitwalo 33 nga byali bya Israel Kabanda.

Omusango ogwokusatu kigambiwa nti ku lunaku lwe lumu Damulira yabba yabba ensawo 10 ez’obumonde 10 n’etundubali nga bibalirirwamu ssente 2,500,000 nga byali bya Steven Ssengoba.

Omusango ogwokuna kigambibwa nti ku lunaku lwe lumu mu kifo kye kimu Damulira mu bugenderevu n’ekigendererwa eky’okwonoona yayonoona omuti gwa Godfrey Bogere.

Puliida wa Damulira yategeezezza kkooti nga entabwe y’okulwanagana kwabwe bw’eva ku nkaayana z’ettaka.

Omulamuzi Kirya yakkiriza okusaba kw’okweyimirira kwa Damulira n’amulagira okusasula emitwalo 80 ez’obuliwo n’abamweyimiridde bana obukadde 2 ezitali zaabuliwo.

Omusango yagwongezaayo okutuusa nga April 6, 2023 lwe banatandika okuwulira obujulizi ku musango guno.