PULEZIDENTI Museveni agabye ebyapa by’ettaka 1,481 eri abantu b’omu bitundu by’obugwanjuba bwa Uganda okubayamba okwenyigira mu nteekateeka za Gavumenti ez’okwekulaakulanya nga tewali abagobaganya ku ttaka.
Bino Museveni yabigabidde ku mukolo ogw’okukulizaako olunaku lw’abakazi mu nsi yonna ogwabadde mu disitulikiti y’e Kiruhura n’akubiriza abakazi okusigala nga bakola nnyo naddala nga beetaba mu kulima n’okulunda ebyomulembe basitule ffamire zaabwe.
Ku mukolo gwe gumu, Museveni yalaze obutambi bwa vidiyo omwabadde abalunzi b’ente ez’amata abakuukuutivu n’ategeeza nti ne Bannayuganda abalala basobola ssinga basigala nga bettanira enteekateeka za Gavumenti. Yagambye nti amata ga Uganda geeyongedde okuva ku liita obukadde 200 buli mwaka okutuuka ku liita obuwumbi 7 n’obukadde 200 buli mwaka.
Oluvannyuma yagabye cceeke eri ensawo y’abakazi ezigenda ku buli Disitulikiti ze yateekawo abakazi bazikozese okwekulaakulanya. N’alabula abaana abasalaasalamu ebyobugagga bya bakadde baabwe nga bafudde n’abawa amagezi bagabanenga magoba agaba gavudde mu ebyo bakadde baabwe bye baatandika so si kubyegabanya.
Minisita w’ekikula ky’abantu, Betty Amongi yeebazizza Museveni olwa pulojekiti y’abakyala ya buwumbi 800 eyatuumiddwa ‘Generating Growth Opportunities and Productivity of Women Enterprises’ (GROW) ng’evujjirirwa Bbanka y’ensi yonna ze bagenda okufuna nga si za bbanja n’agamba nti abakyala beetegeke okukola ennyo okwekulaakulanya n’okusitula amaka gaabwe.
Omubaka omukazi owa Disitulikiti y’e Kiruhura mu Palamenti, Jovanice Twinobusingye ku lwa banne yasiimye Museveni olw’okubawagira ng’abawa ebifo eby’amaanyi omuli eky’omumyuka wa Pulezidenti, eky’Obwasipiika, Katikkiro wa Uganda, obwaminisita obulala omuli obwaminisita w’ebyenjigiriza, ebyobulamu, n’ebifo ebirala ebirimu abakazi ne mu bitongole by’ebyokwerinda.
Mu bagenyi ab’enjawulo abaabadde ku mukolo guno, kwabaddeko Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among, Katikkiro wa Uganda - Robinah Nabbanja, omumyuka wa NRM asooka Haji Moses Kigongo, ababaka ku lukiiko olukulu olutwala NRM, baminisita ab’enjawulo, ababaka ba Palamenti, abaaliko ababaka ba Palamenti, ababaka b’ebibiina by’ensi yonna, ab’amawanga ag’ebweru n’abalala bangi.
Omulamwa gw’omwaka guno gwabadde gugamba nti ebyenjigiriza ebya bonna ebirimu okutumbula ssaayansi, tekinologiya n’obuvumbuzi.