Obumu ku bubenje bwa takisi buva ku baddereeva abakozesa ebiragalagala - Ssentebe wa UTODA

OMUZE gw'okukozesa ebiragalagala ogucaase mu baddereeva ba takisi ensangi zino gweraliikirizza abakulembeze ba takisi ne bawera okugoba abakozesa biragalagala mu mulimo gwabwe.

William Katumba omuwanika ku lukiiko olutaba abakulembeze ba takisimu mu ggwanga ng'avumirira Baddereeva abakozesa ebiragalagala.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Baddereeva #takisi #okwamuka #omulimu #ebiragalagala

Bya James Magala

OMUZE gw'okukozesa ebiragalagala ogucaase mu baddereeva ba takisi ensangi zino gweraliikirizza abakulembeze ba takisi ne bawera okugoba abakozesa biragalagala mu mulimo gwabwe.

Ssentebe wa UTODA, William Katumba era nga ye muwanika ku lukiiko olutaba abakulembeze batakisi mu ggwanga olwa UTOFU alaze obwennyamivu olwa baddereeva ba takisi ne bakondakita abasusse okwekatankira ebiragalagala omuli; enjaga, amayirungi n'ebirala kyokka ne bavuga abasaabaze ky'agambye nti kissa obulamu bw'abasaabaze mu matigga.

Ategeezezza nti ekiseera kituuse baddereeva bonna abakozesa ebiragalagala,baamuke omulimu gwa takisi awatali kusooka kukakibwa.

Katumba agambye nti ddereeva wa takisi asuubirwa okweyisa mu ngeri ennungi ng’ assa ekitiibwa mu bulamu bw'abantu, nga wano asabye baddereeva abakozesa ebiragalagala okunoonyako ekibanja awalala so si mu takisi.

Kyokka Katumba agambye nti abakulembeze bafubye okusomesa baddereeva ku bulabe obuli mu kukozesa ebiragalagala nti kyokka abasinga obungi babinywa mu bubba, ekibaleetera okukola obubenje obutta abantu abatalina musango n'ategeeza nti yenna anaakwatibwa amateeka gaakumukolako nga bwe galagira.