Abaana 2 abooluganda bafiiridde mu kidiba ku kyalo Kasenyi mu Kiganganzi Town Council mu disitulikiti y’e Bukomansimbi.

Abakungubazi mu lumbe nga basobeddwa.
Abagenzi kuliko Brian Nsereko, 10 ng’ono abadde mu P3 ssaako muto we, Pius Ssevume 8, abadde asoma P2.
Okusinziira ku maama w'abaana bano Josephine Namatovu, abaana be baakedde kugenda ku ssomero kyokka bwe baakomyewo n’abatuma amazzi bafumbe enva wabula akanze kubalinda nga tabalaba.

Abagenzi Ssevume (ku kkono) ne muganda we Nsereko (ku ddyo) abaafiridde mu mazzi.
Namatovu wakati mu kwaziirana yategeezezza nti munnaabwe Kevin bw’akomyewo n’amulagira okukkirira ku kidiba anone ku bane wabula mu kugenda we yasangidde mikwano gya baganda be ne bamutegeeza nga Ssevume ne Nsereko bwe baabadde bagudde mu kidiba.
Ono yadduse n’ategeeza nnyina naye eyazambalidde ku mugongo wabula ebyembi yagenze okutuuka nga abaana be baafudde dda.
Taata w'abaana bano, Yuda Ssevume agamba nti yabadde agenze kukola kyokka akawungenzi na’komawo n’asanga nga Ssevume ne Nsereko bagenda ku luzzi n’ayagala abayimirize obutagenda kyokka n’abireka.

Maama w'abaana Josephine Namatovu ng'ali mu birowoozo.
Ayongeddeko nti, kyamubuuseeko ate mu kaseera katono okufuna amawulire nti abaana be bafiiridde mu kidiba.
Okusinziira ku batuuze, ebidiba bino bifuuse kattiro wabula nga kino bakitadde ku bbula ly'amazzi erisusse mu kitundu kino.
Baategeezezza nti baakafiirwa abantu 10 mu mwaka gumu gwokka wabula nga mu kiseera kino tebamanyi kyakuzzaako kuba ne nayikondo ze balina mu kitundu zaayonooneka dda nga basigalira kufuna mazzi ku bidiba .
Bongeddeko nga bwe bakyalina n'ekizibu ky’okuba nti amazzi ge bakozesa bagagabana n'ente bwe batyo be basaba gavumenti okuvaayo ebayambe ku mbeera eno nti kuba basobeddwa eka ne mu kibira.