ENTIISA ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kasenyi mu Kiganganzi Town Council mu disitulikiti y’e Bukomansimbi abaana babiri aba mutuuze munnaabwe bwe bagudde mu kidiba ky'amazzi ne bafiiramu.
Abagenzi kuliiko; Brian Nsereko 10, ng’abadde mu asoma P3 ne mutoowe Pius Ssevvume 8, ng’abadde asoma mu P2.
Maama w'abaana bano Josephine Namatovu agamba nti, abaana be bwe baakomyewo okuva ku ssomero n’abatuma ku kidiba okufuna amazzi okusobola okufumba emmere ey’ekyeggulo wabula yakanze kubalinda nga tabadda.
Namatovu ng’ayaziirana ategeezezza nti, munnabwe Kevin bwe yakomyewo n’amulagira okubawondera ku kidiba wabula mu kugenda we yasangidde mikwano gya baganda be ne bamutegeeza nti, Ssevvume ne Nsereko bagudde mu kidiba.
Ono yadduse n’ategeeza nnyina naye eyazambalidde ku mugongo wabula yagenze okutuuka ng’abaanabe baafudde dda.
Taata w'abagenzi Yuda Ssevvume agambye, nti yabadde ava awaka akawungeezi n’aleka Ssevvume ne Nsereko nga bagenda ku luzzi n’alowooza ku ky’okubayimiriza wabula n’abaleka era waayise akaseera katono ne bamubikira abaana bano. Abamu ku batuuze bagamba nti ebidiba bino bifuuse kattiro era nga kivudde ku bbula ly'amazzi mu kitundu kino.
Baategeezezza nti, baakafiirwa abantu 10 mu mwaka gumu! Kyokka tebamanyi kyakuzzaako kuba nayikonto ze baalina mu kitundu zaayonooneka dda nga baasigalira kukozesa bidiba.
Bongeddeko n’ekyokuba ntiebidiba bino n'ente ze bikozesa ne basaba Gavumenti okuvaayo ebayambe ku mbeera eno nti kuba basobeddwa eka ne mu kibira.
Embeera eno ewalirizza amyuka RDC wa Bukomansimbi, Fred Kalema Pax okulambula nayikonto ezaafa okulaba engeri gye bayinza okuyambamu abatuuze okukendeeza ku muwendo gw'abantu baabwe abafiira mu bidiba bino.
Kalema asanze nayikonto zonna zaayononeka dda era omusango agutadde ku bayinginiya ba disitulikiti abeesuliddeyo ogwannaggamba okuziddaabirizza ekivuddeko abantu okuwanjanga olw'amazzi olutatadde. Oluvannyuma poliisi okuva e Bukomansimbi yannyuludde emirambo ne giweebwa bazadde okukola enteekateka z'okuziika.
Omuwandiisi w'ekyama mu Minisitule y’ebyobulimi n'obulunzi Ronald Ssegawa Gyagenda omwaka oguwedde yalambula ebidiba byonna mu Bukomansimbi n’ategeeza nga bwe bagenda okubisako enkomera okukendeeza ku muwendo gw'abantu abafiiramu wabula tewali kyali kikoleddwa