Bya Edith Namayanja
ABAKUGU mu bya ssaayansi abali mu kunoonyereza ku ddagala erigema akawuka ka COVID 19 bawuniikiriza ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo mu bitongole bya gavumenti bwe bategezeezza nti eggwanga ne gyebuli kati teririna ddagala ligema kawuka kano.

Dr. Grace Nambatya Kyeyune Ng'annyonnyola Ababaka Ku Nsonga Y'okukola Eddagala Erigema
Abakugu nga bakulembeddwaamu Polof. Vinand Nantulya, omukugu mu kunoonyereza ku buwuka mu Zygen Biotech n’abalala okubadde Ass. Polof. Sheila Belinda owa Novel Advenovector, Ass. Polof. Enoch Matovu owa Clinical Trial n’abalala leero balabiseeko mu kakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Busiro East Medad okunnyonnyola buwumbi 31 ezayisibwa mu mbalirira eyenyongereza ezaalina okuweeba pulojekiti za bannassaayansi 23 okukola eddagala erigema COVID 19.
Ensimbi zino zaayisibwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2020/21 era kuno kwaliko obuwumbi 15 ezaali ez’okugula ebyuma ate endala ezisoba mu buwumbi 15 zaali zaakuddukanya butya abakugu bano bwe bagenda okukola eddagala lino.

Polof. Sheila Belinda Anoonyereza Ku Ddagala Erikola Covid 19.
Ababaka okubadde Michel Bukenya owa Bukuya County,Emmanuel Otaala owa West Budama South kw'ossa ne ssentebe w’akakiiko batadde ku nninga abakungu bano okunnyonnyola ki ekikyabalemeseza okukola eddagala lino , okubanga pulezidenti Museveni yasuubizanga nti mu bbanga ttono Uganda ejja kuba n’eddagala lyayo ekitanabaawo, okubanga go amawanga amalala gamala dda okukola eddagala nga ne wano ate abataweebwa mulimu okuli aba COVIDEX ate bbo balina kyebakola okutaasa eggwanga.
Mu kwanukula, Polof. Nantulya ategeezezza COVID akyaliwo era nga bakola bukubirire okulaba nga bafulumya eddagala kyokka ababaka ne bamuteeka ku nninga annyonnyole ki ekibaleete okulwawo kubanga ekirwadde bwekiddamu okutaama ate era tuyinza okuddukira mu Bazungu okututaasa nga wano tukyalinda ddagala ate nga ensimbi zaafulumizibwa dda.
Ye Belinda agambye nti bakyali mu kugezesa buli kika kya ddagala lye bakola wabula nga obuzibu bwe basingaana kwe kuba ng' ekika ky’ebisolo ebya Chimpanze kwebalina okuligezeseza wano mu Africa tebiiriwo naye nga bakyatoba okulaba nga balifulumya mu bbanga eritali lya wala.