Ssaabalamuzi Dollo ayagala Gav't esseewo olunaku lw'okujjukirakjo eyali Sipiika Oulanyah
Mar 21, 2023
SSABALAMUZI wa Uganda Alphonse Owinyi Ddolo ayagala gavumenti essewo olunaku olw'enjawulo olw'okujjukira n'okukubaganya ebirowoozo olw'emirimo amatendo eyaliko Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah gye yakolera eggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision
Okwogera bino Ssabalamuzi Alphonse Owinyi Ddolo asinzidde ku kkanisa ya All Saints e Nakasero mu kusaba okutegekeddwa okujjukira eyaliko Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah Famire Kkanisa ya All Saints e Nakasero bw'abadde yeetabye mu kusaba okw'okujjukiranga bweguweze omwaka omulamba bukyanga eyali Sipiika wa Palamenti Jacob ava mu bulamu bw'Ensi eno.
Ssabalamuzi Ddolo ayogedde ku mugenzi Jacob Oulanyah nga omusajja eyaweereza Ensi ye n'omutima gumu nga alwanirira Eddembe ly'obuntu ko n'enkulakulana y'e Ggwanga eyawamu n'asiima abaategese okusaba okw'okumujjukira kyokka n'ategeeza nti gavumenti esaana okuteekawo olunaku olw'enjawulo okujjukiranga Oulanyah olw'ettafaali eddene lye yagatta ku nkulaakulana y'eggwanga lino.

Abamu ku baana b'eyali Sipiika Jacob Oulanyah mu kusabira kitaabwe ku Ddyo ye Mubaka Andrew Ojok eyadda mu kifo kya kitaawe.
Mu kusaba kuno Sipiika wa Palamenti Anita Among mu bubaka bw'atisse Omumyuka we Thomas Tayebwa atabukidde Bannabyabufuzi abasusse okubakolokota nga bwebadibaze Palamenti okuva Oulanyah n'ategeeza nti bo tebagenda kulwana ntalo nga abamu bwebalowooza.
Okusaba kuno kukulembeddwamu Bp.Hannington Mutebi nga ono atenderezza omuegenzi Jacob Oulanyah olw'engeri gye yaweereza Ekkanisa n'asaba abakulembeze bonna okwekubamu Ttooki ku ngeri gyebakola emirimo gyabwe.
Eno aba Famile y'omugenzi Jacob Oulanyah nga bakulembeddwamu Francis Imuna basoomozezza abakulembeze okutuukiriza ebirooto by'omugenzi Jacob Oulanyah omuli;okubunyisa Amasannyalaze mu mambuka ga Uganda,okuzimba Amatendekero g'eby'emikono n'ebirala.
Ku lwa Gavumenti Minisita avunaanyizibwa ku by'Amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Ruth Nankabirwa agumizza aba Famile nti gavumenti ekole ekisoboka okulabanga ebirooto Oulanyah bye yaleka bituukirizibwa.
Okusaba ku kwetabiddwako abakukunavu bangi omubadde ababaka ba Palamenti, bannabyabufuzi, akulira kampuni ya Vision Group Don Wannyama n'abalala bangi.
Related Articles
No Comment