Omuvubuka agambibwa okuba ng’aludde nga yeenyigira mu bubbi bwa pikipiki, akwatiddwa poliisi.
Ivan Maganda omutuuze w'e Idudi mu disitulikiti y'e Bugweri, y'akuumirwa ku poliisi eyo, ku bigambibwa nti yabbye pikipiki nnamba UED 993 N .
Kigambibwa nti Maganda eyeefudde anoonya ennyumba ey’okupangisa mu kitundu ekyo, aliko owa bbooda gwe yalimbye amwazike pikipiki asombereko ebintu bye okubitwala mu nnyumba gye yabadde afunye.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti yagenze n'omwana wa nnyini mayumba ku pikipiki, nti bwe bweyatuuse e Busembatya n'amulekawo ye n'abulawo ne pikipiki.
Agasseeko nti basobodde okumunoonya ne bamukwata ne pikipiki ne bamuggalira era ng'alina n'emisango emirala egy'okubba pikipiki.