POLIISI mu Kampala , eri mu kunoonyereza ku musomesa wa yunivaasite asangiddwa mu nnyumba nga mufu, nga n'omulambo gwe, gutandise okuvunda.
Tom Patrick Mugizi 64, omusomesa mu Victoria University ne MUBS e Nakawa, y'asangiddwa mu nnyumba mu zzooni ya Kisota mu Kikaaya mu munisipaali y'e Nakawa ng'afudde nga, n'emiryango miggule.
Mwannyina, Annet Runtemu, yatemezza ku poliisi, oluvannyuma lw'okumala ennaku nga tamuwuliza nga n'essimu ze, teziriiko, kwe kuzuula omulambo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, ategeezezza nti omulambo, gusangiddwa ku buliri era ng'ennyumba ebunye ekivundu.
Agasseeko nti abadde atera okutawaanyizibwa obulwadde era ng'omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mulago, okwongera okugwekebejja okuzuula ekyavuddeko okufa kwe ng'okunoonyereza kukolebwa.