Amawulire

Ebintu 68 ebirina okukolebwa okumalirawo ddala siriimu

OLWALEERO nga 13 April 2023 lwe giweze emyaka 68 bukya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii azaalibwa. Kabaka yasiima Amazaalibwa ge gajagulizibwe ku mulamwa ogukubiriza abasajja okuba abasaale mu kulwanyisa mukenenya olw’okutaasa omwana omuwala.Wano Dr. Nelson Musoba, akulira Uganda AIDS Commission w’asinzidde n’atulambikira ebintu 68 ebirina okukolebwa okumalirawo ddala siriimu mu Uganda:1. Okugoberera okuwabulwa kwa pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku ngeri gye tuyinza okumalawo akawuka ka siriimu (HIV/AIDS).

Dr. Nelson Musoba
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OLWALEERO nga 13 April 2023 lwe giweze emyaka 68 bukya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii azaalibwa. Kabaka yasiima Amazaalibwa ge gajagulizibwe ku mulamwa ogukubiriza abasajja okuba abasaale mu kulwanyisa mukenenya olw’okutaasa omwana omuwala.
Wano Dr. Nelson Musoba, akulira Uganda AIDS Commission w’asinzidde n’atulambikira ebintu 68 ebirina okukolebwa okumalirawo ddala siriimu mu Uganda:

1. Okugoberera okuwabulwa kwa pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku ngeri gye tuyinza okumalawo akawuka ka siriimu (HIV/AIDS).
2. Buli muntu okwekebeza leero n’amanya bw’ayimiridde.
3. Bw’okizuula nga tolina kawuka weekuume osigale nga tokalina.
4. Bw’okizuula ng’olina akawuka goberera amateeka n’ebiragiro by’omusawo.
5. Okwagala n’okubeera omwesigwa eri omwagalwa wo.
6. Weewale okwegatta n’abantu b’otamanyi bwe bayimiridde ku nsonga ya siriimu.
7. Bw’oba osazeewo kwegatta na muntu gw’otomanyi bw’ayimiridde ku nsonga y’akawuka mukozese kondomu.
8. Abaana mulindeko ku bikwatagana n’ensonga z’omukwano okutuusa nga mufumbiddwa.
9. Okwewala ettamiiro n’okukozesa ebiragalalagala ebiyinza okukuleetera okwegatta n’omuntu nga totegeera.
10. Amasomero gonna n’amatendekero aga waggulu gasaanye okujjukizanga abayizi ku kawuka ka siriimu buli kadde.
11. Ggwe kennyini weekuume, okuumireko n’omwagalwa wo, abaana bo ssaako abantu abalala.
12. Beera mwegendereza obutakwatibwa kawuka kaleeta sirimu.
13. Kola okusalawo okutuufu bwe kituuka ku kutangira akawuka akaleeta siriimu.
14. Weewale embeera zonna eziyinza okukuleetera okukwatibwa akawuka akaleeta siriimu.

47. Okwongera amaanyi mu bakozi n’okusomesa abasawo abasomesa ssaako okubudaabuda abalina akawuka .
48. Okusomesa ku kawuka akaleeta siriimu basaanye bakugatte ku pulogulamu ya Parish Development Model (PDM) erwanyisa obwavu.
49. Abawala n’abalenzi abalemeddwa okumalako emisomo gyabwe okubayingiza mu pulogulaamu z’okwekulaakulanya ezitegekebwa gavumenti babeere ne kye bakola.
50. Okukimanya nti, ennamba esinga okuba mu bulabe terekebwa bbali ku buweereza obugabwa obukwata ku kawuka ka siriimu.
51. Okugoberera
ABAAMI MUWEREKERE BAKYALA BAMMWE OKUNYWA EDDAGALA
obubaka obuweebwa ku nnamba y’abantu etunuuliddwa okubeera nga y’eri mu matigga okusinga okukwatibwa akawuka akaleeta siriimu.
52. Okugoberera oba kondomu we zituuse ziteekebwa mu bifo abantu gye basobola okuzifunira.
53. Okwongera omusimbi mu bikozesebwa okwetangira akawuka ka siriimu.
54. Okugoberera n’okulondoola ebikebera, eddagala n’ebikozesebwa ku kawuka ka siriimu okuva wansi mu byalo.
55. Kkampuni z’obwannannyini okwenyigira obutereevu n’okussa ensimbi mu nkola eteekebwawo okumalawo akawuka akaleeta siriimu.
56. Abakulembeze ku byalo byonna basaanye okubeera abasaale mu kuyambako okumalawo akawuka akaleeta siriimu.
57. Kkampuni zonna ne ofiisi okwenyigira obutereevu mu nteekateeka ze babeera bataddewo okulwanyisa siriimu.
58. Gavumenti ezeebitundu zirina okubeera ne pulaani ku kulwanyisa akawuka ka siriimu.
59. Okwongera okusomesa abantu okuggya empalana n’obusosoze ku nsonga ezikwata ku kawuka ka siriimu.
60. Abantu abakwatibwako basaanye okuteekawo enkola ennuhhamu ku ngeri gye basobola okumalawo n’okulwanyisa akawuka akaleeta siriimu.
61. Okugoberera n’okulondoola pulogulaamu za gavumenti eziteekebwawo okulwanyisa siriimu ku mutendera gw’eggwanga lyonna.
62. Okuteekawo enkola ennuhhamu engeri eggwanga gye lirina okutangira n’okulwanyisa siriimu.
63. Okukuhhaanya byonna ebikwata ku kirwadde kino ne biteekebwa mu kompyuta.
64. Amawulire gasaanye okubuulira n’okuwa abantu obubaka obutuufu bwokka obukwata ku siriimu buli kadde.
65. Be kikwatako okunywerera ku mulamwa ogugamba nti, “Weekuume, okukyusa enneeyisa n’okukozesa kondomu” nga emu ku nkola y’okulwanyisa n’okumalirawo ddala siriimu mu Uganda.
66. Abo abali ku ddagala lya ARV okugoberera amateeka g’abasawo n’okumira eddagala lino nga tewali kwosaamu.
67. Omuze gw’okwegatta n’abakyala ab’enjawulo okusingira ddala mu basajja gusaanye gukome.
68. Ebikolwa by’abasajja okwekakaatika ku baana abatanneetuuka n’okukaka abakyala akaboozi nabyo bisaanye bikome

ABAAMI MUWEREKERE BAKYALA BAMMWE OKUNYWA EDDAGALA

15. Bw’osalawo okutandika eby’omukwano, beera n’omuntu oyo omu oleme kuwunjawunja ate musooke kwekebeza.
16. Abasajja basaanye okukomya emize egibasindiikiriza mu kwegadanga, gye bafunira siriimu.
17. Abasajja bafeeyo okulabirira amaka gaabwe n’abaana baabwe baleme okuwankawanka mu kunoonya ekyokulya gye bayinza okufuna akawuka.
18. Beera ng’okimanyi nti, siriimu atta ate talina ddagala limuwonya.
19. Kimanye nti, eddagala eriweweeza siriimu olimira obulamu bwo bwonna.
20. Bw’okizuula nti, olina akawuka ka siriimu, mira eddagala lyo ng’abasawo bwe bakulagiridde.
21. Abaagalana balina okukozesa enkola ya kizaalaggumba okwewala embuto ze bateetegekedde.
22. Abembuto okugenda mu malwaliro okunywa eddagala nga bukyali kubanga mubaamu n’okubakebera akawuka ka sirimu.
23. Abasajja okuwerekera bakyala baabwe nga bagenda okunywa eddagala nga bali embuto bombi bafune okukeberebwa akawuka ka siriimu.
24. Abasajja basaanye okwekebeza akawuka ka siriimu nga bali wamu ne bakyala baabwe.
25. Abasajja okuyamba ku bakyala baabwe mu kukuza abaana beewale okutunula ebbali gye bafuna akawuka ka siriimu.
26. Emiti emito okwekuuma balinde okutuusa nga bamaze okusoma n’okufumbirwa.
27. Abavubuka okweyisa mu nneeyisa etebateeka mu mbeera ya kukwatibwa bulwadde.
28. Abavubuka obuteenyigira mu mize egya kaabuvubuka nga ebiragalalagala egiyinza okubasuula mu ntata.
29. Abaana okwewala ebikolwa by’okwegatta nga bakyali bato kuba kiba kyangu okubuzaabuzibwa n’ofuna akawuka.
30. Abazadde okufissizaawo abaana baabwe akadde bababuulire ku nsonga za siriimu.
31. Okwongera kondomu mu bitundu siriimu gye yeegiriisiza.
32. Obubaka obusomesa n’okubuulira abantu ebikwata ku kawuka akaleeta siriimu.
33. Obubaka bwonna obukwata ku kawuka ka siriimu bulina okukakasibwa akakiiko ka Uganda Aids Commission.
34. Okwongera ebifo we bakeberera n’awajjanjabirwa ababeera bakwatiddwa akawuka ka siriimu ku bwereere.
36. Okukomya empisa z’obuwangwa zonna ezisobola okusaasaanya siriimu.
37. Abakulembeze ku buli mutendera okwogera ne be bakulembera ku ngeri y’okwewala akawuka akaleeta siriimu.
38. Abafuzi b’ensikirano okwenyigira obutereevu mu kusomesa abantu okwekuuma akawuka akaleeta siriimu.
39. Abakulembeze b’eddiini nabo basaanye okwenyigiramu.
40. Okugatta okusomesa ku kawuka akaleeta siriimu mu pulogulamu endala ezisomesa ku kumalawo endwadde endala mu bantu.
41. Okwongera obujjanjabi bw’akafuba n’akawuka ka siriimu mu Uganda yonna.
42. Abasomesa balina okwekakasa nti, okusomesa kwabwe ku kawuka ka siriimu tekulina kwe kulumya, naddala ku bantu abalina akawuka kano.
43. Okukozesa emikutu gy’empuliziganya okuli; leediyo, tivvi, amawulire amasimu, nga basomesa okwekuuma siriimu.
44. Okukuumira abawala mu masomero.
45. Okwongera emisomo egikwata ku kwegatta n’obulabe obulimu eri abaana.
46. Okwongera okukubiriza abantu okwegatta okuli mu mateeka n’okwewala emize egikolebwa mu kwegatta egivaako abantu okukwatibwa akawuka mu butanwa.

Tags: