Aba KACITA balaze engeri ebinnya mu nguudo bwe bibakosaSsaabasumba

ABAKULEMBEZE b’abasuubuzi mu Kampala bavuddeyo ku mbeera y’enguudo embi n’emisolo ne basaba KCCA ekole ku nsonga zino mu bwangu ng’abantu tebannatuuka ku ddaala liggala maduuka.Bagambye nti Bannakampala bafiirwa ensimbi ezisoba mu buwumbi musanvu buli mwaka lwa nguudo mbi ezivaako mmotoka okukutuka ebyuma, obudde bwe bamala mu kalippagano k’ebidduka nga kiva ku binnya mu nguudo za Kampala.

Ssentebe wa KACITTA, Musoke (ku ddyo) ne Issa Ssekitto mu lukiiko.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE b’abasuubuzi mu Kampala bavuddeyo ku mbeera y’enguudo embi n’emisolo ne basaba KCCA ekole ku nsonga zino mu bwangu ng’abantu tebannatuuka ku ddaala liggala maduuka.
Bagambye nti Bannakampala bafiirwa ensimbi ezisoba mu buwumbi musanvu buli mwaka lwa nguudo mbi ezivaako mmotoka okukutuka ebyuma, obudde bwe bamala mu kalippagano k’ebidduka nga kiva ku binnya mu nguudo za Kampala.
Ssentebe wa KACITA, Theodius Musoke ne banne baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ne balaga engeri ekitongole kya KCCA gye kizihhamizzaamu ekibuga mu kifo ky’okukikulaakulanya.Baasanyukidde enteekateeka y’okukuba ebifaananyi by’ebinnya egenda mu maaso ku mitimbagano ne mu mawulire ne basaba KCCA ekole enguudo eve mu kwekwasa.
Ku musolo gw’amayumba mu Kampala, baalabudde KCCA ekomye okulumya abasuubuzi abakolera mu maduuka ng’eggala ebizimbe ate ng’ebanja omugagga nnannyini kizimbe atalina wadde dduuka ku kizimbe ekiggalwa.
“Buli KCCA lw’eggala ng’ebanja ssente za busuulu bw’ekizimbe, abasuubuzi be bakosebwa,” Musoke bwe yagambye. Yasabye KCCA eteme empenda n’amakubo amalala mwe basobola okuyita okubanja ssente z’emisolo ng’abasuubuzi tebanyigiriziddwa.
Omwogezi wa KCCA, Simon Kasyate yagambye nti kituufu embeera mbi naye abantu babeere bagumu omulimu gw’okukola enguudo gwatandise era n’ebinnya babiziba. Yagambye nti balina okusoomoozebwa kwa ssente kubanga Gavumenti tennabawa zimala kyokka bagezaako okulaba nti buli kimu kikolebwa n’asaba Bannakampala babeere bagumiikiriza.
Loodi Mmeeya Erias Lukwago yagambye nti ekizibu ky’enguudo mu Kampala yakiraba ku ntandikwa y’omwaka n’akuba enduulu nti waliwo abaagala okubba ssente z’enguudo era ensonga n’azitwala mu palamenti kati enoonyereza.
Yategeezezza nti mu mbeera y’ebbula lya ssente, abakozi ba KCCA baasalawo okuduumuula emiwendo gya ssente ezikola enguudo nga buli kkiromiita bagikolera obuwumbi bwa ssente 15 ekitali kituufu.
Yagambye nti emivuyo gyonna gikolebwa bakozi ba Gavumenti abaagala okufuna enjawulo ku buli kintu, ekivuddeko emirimu okwesiba