KAABADDE kaseera ka bunkenke Abubakar Kalungi gavumenti gw’ebadde erumiriza okutta owa poliisi, Muhammad Kirumira bwe yabadde ava ku kkooti okuddayo awaka oluvannyuma lwa kkooti enkulu okumwejjeereza omusango gw’obutemu.
Waabaddewo okutya nti abeebyokwerinda bagenda kuddamu okumukwata nga bwe baakola ku munne Hamza Mwebe, kkooti gwe yasooka okwejjeereza omusango naye yamalirizza takwatiddwa.
Omulamuzi Margaret Mutonyi yejjeerezza Kalungi okutta Kirumira ne Resty Mbabazi Nnaalinya ng’agamba nti kasita poliisi yayingiramu ekirowoozo nti abatemu bayeekera ba ADF ne bava ku mulamwa.
ZINO Z’ENSONGA KWE YASINZIDDE OKUMWEJJEEREZA.
l. Sitetimenti ya Kalungi: Nga September 29, 2018 mbega wa poliisi Steven Wolimbwa yaggyako Kalungi sitetimenti nti ng’akkirizza emisango. Sitetimenti yawandiikibwa mu Lungereza ng’ate Kalungi yamulaalika nti amanyi Luganda. Yali ya mpapula 26 naye ku lusooka nga banjula emisango essira baaliteeka ku kutta Kirumira ate Mbabazi n’amwerabira.
Omulamuzi yagambye nti baalaga nti obulamu bwa Mbabazi bwali tebugasa. Ku mpapula mu kifo kya Kalungi okuwandiikako erinnya lye n’assaako n’omukono, baateekako mukono gwe gwokka. Ku lupapula olusembayo Walimbwa w’agambira nti byonna byawandiise azzeemu okubimusomera mu Luganda era abitegedde bulungi n’abikkiriza nti bituufu, amannya ge baagakyamya (baawandiika Abibakar Kalungi) era tekuli mukono gwe okuggyako ogwa Walimbwa yekka.
Omulamuzi yagambye nti Walimbwa eyategeeza nti Oluganda yalusomako mu P.1 ne P.2 asobola atya okuba n’obumanyirivu okutuuka okusomera Kalungi sitetimenti mu butuufu bwayo mu Luganda. Nti ne mu sitetimenti kwe baabadde basibidde olukoba, Kalungi yakkiriza okutta abagenzi, teyeewaayo nti yali amanyi lwaki Kateregga (omugenzi), yamulagira okunoonya emmotoka ya Kirumira oba okumanya nti baalina ekigendererwa ky’okutta Kirumira era omusango awo yali tagukkiriza nga bwe baali basuubira ate Walimbwa bwe yagattako okugamba nti Kalungi teyalina mabwa ku mubiri awo ne yeewaayo nti yali mulimba.
2. Okumutulugunya: Lipooti y’omusawo eyakebera Kalungi ng’amaze okukola sitetimenti yalaga nti yalina amabwa mu kyenyi agaali gawona, ku mumwa n’omugongo era yalumiriza nti baamukuba bwe baali bamukaka okussa omukono ku sitetimenti gye baali baluse. Omulamuzi yagambye nti kino kyali kituufu yatulugunyizibwa kubanga oludda oluwaabi terwannyonnyola kkooti obanga mu kumukwata teyalina mabwa gano na wa gye yagaggya.
3. Ku nsonga ya Kateregga okubeera nga ye yalagira Kalungi okunoonya emmotoka ya Kirumira: Oludda oluwaabi terwaleeta kifaananyi kye kukiraga kkooti okukakasa nti yali muntu okuggyako okutegeeza kkooti nti baamutta nga akwatibwa. Tewali na muserikale yajja kutegeeza nti ye yamukuba amasasi n’embeera eyaliwo, ebbaluwa ekakasa nti yafa, gye baamuziika oba abantu be okujja mu kkooti.
4. Essimu; Lipooti y’amasimu yaleetebwa omukugu Frank Nyakairu ng’etuumiddwa “Joint Techinical Communication Chard Foe ADF” eno yali eraga amasimu abantu abateeberezebwa okubeera aba ADF ge beekubiranga n’okweweereza obubaka. Omulamuzi yagambye nti lipooti yali teyogera ku musango gw’okutta Kirumira ne Mbabazi wabula bayeekera ba ADF. Mu lipooti mwalimu amasimu musanvu nga kigamibwa nti mwalimu eya Kalungi, Kateregga ne Hamza Mwebe, wabula teyategeeza kkooti ngeri ki gye yamanyaamu nti layini zino zaabwe oba okuleeta bye baawandiisa bwe baali bawandiisa layini. Tebaaleeta bubaka ku ssimu ng’obujulizi. Tebaleeta bujulizi nti aba ADF be batta Kirumira ng’ate lipooti y’amasasi eyogera ku batujju ba ADF. Yagambye nti ekigenderewa kya Nyakairu kyali kya kulumika ssimu ya Kalungi gwe baateebereza okuba owa ADF, bamuvunaane eby’okutta afande Felix Kaweesi kyokka bakomekkereza bamutadde mu bya kutta Kirumira.
5. Waliwo n’omuntu eyakubira Kirumira essimu kyokka waayita eddakiika ttaano zokka n’attibwa: Naye mu bujulizi bwabwe tebalina we bakoonera ku bikwata ku muntu ono newankubadde atunuulirwa ng’eyandibadde ow’omuzinzi mu kunoonyereza kwabwe.
6. Essimu ya mukyala wa Kirumira n’abagenzi: Waliwo ebbaluwa poliisi gye yawandiikira akulira ebyendaga butonde (Director Foresnics) nga baagala bakebere layini ya mukyala wa Kirumira, abagenzi bombi, Bashir Ali Kabanda ne Lawrence, okuzuula baani abaabakubira ng’ettemu terinnabaawo, nga liwedde n’ennaku ezaddirira, naye okusaba kuno kwakoma mu buwandiike. Nti singa kyakolebwa poliisi yandibadde eri mu kkubo ttuufu ery’okuzuula abatemu.
7. Poliisi obutakwata Abdul Kigongo eyavaayo mu lwatu n’agamba nti yali yaakoogera ne Kirumira amasasi ne gatandika era n’asigalawo ng’ayimiridde paka Pulezidenti lwe yajja n’ayogera byonna ebyaliwo era ne baggyawo n’omulambo ng’alaba, baasuula akabonero kubanga ono ye yali omuntu omutuufu gwe bandisookeddeko okukwata so si Kalungi. Yagambye nti obuvumu bwe yalaga ng’alaba Kirumira attibwa bwali bwewuunyisa, kyokka baasalawo kumukozesa nga mujulizi mu kifo ky’okumunoonyerezaako.
8. Kalungi baamukwatira Buliisa-Hoima era agamba nti yali agenze kusereka nnyumba. Yagamba nti ku lunaku Kirumira lw’attibwa yali Ndejje ng’asiba ngogo z’omugagga eyamuwa omulimu. Bwe baamuleeta mu kkooti oludda oluwaabi terwaggyawo bigambo bye nti akola mulimu gwa bubazzi ate ne batannyonnyola kkooti ndowooza yaabwe lwaki Kalungi yagenda e Buliisa. Kkooti esigala egendera ku bujulizi obuliwo nti yali agenze kusereka nnyumba so si kuteebereza nti yali yeekwese.
9. Okutta Kateregga. Nti bwe kiba kituufu Kateregga yali wa ADF era ye yatta Kirumira n’okuyingiza Kalungi mu ddiiru lwaki baamukuba amasasi naye ne bamutta ng’ate ye yalina obujulizi obwessimba ku baani abamutuma atte, poliisi bwe yali esinga okwagala. Okugamba nti baamutta nga tebaleese bbaluwa ekakasa nti yali muntu era yafa yadde okubaako engeri gye bamugatta ku ADF ne Kalungi tekimala.
10. Poliisi yalemererwa okuleeta obujulizi ku masasi agaakozesebwa n’ensibuko y’emmundu mu kutta Kirumira, wadde nga baafuna ebisosonkole we baamuttira. WeBALOOYA BOOGEDDE
Ernest Kayondo: Obuzibu bwe tulina, poliisi emala gakwata oluusi ng’eyagala kweggyako mugugu nti balemeddwa okubaako gwe bavunaana ku mu musango ogubeera gukoleddwa. Looya olukwata omusango obujulizi obulabirawo nti temuli era poliisi esaana etandike okuvunaanibwa olw’okutta amannya g’abantu. Omulamuzi okugamba nti aba poliisi ebeetwala ng’abakugu be bavaako emisango okufa, yabadde muvumu nnyo era yakoze bulungi okubalaga obuzibu we buva.
Rose Katugake: Kalungi agende mu kkooti asabe Gavumenti emuliyirire olw’okumusibira obwereere okumala emyaka egyo gyonna. Yadde nga Gavumenti ekyasobola okujulira naye ensala y’omulamuzi ekyaliwo. Poliisi egenda n’ereeta obujulizi mu kkooti nga bwakugatta bugassi na kuteebereza.
Omuwaabi wa Gavumenti omukulu (DPP) Jane Frances Abodo, yagambye nti bagenda kutuula bayite mu nsala y’omulamuzi balabe oba nga basobola okujulira. Yagambye nti kati ku misango eminene nga gino, batandiseewo enkola nga owa poliisi anoonyereza abeera ne looya wa Gavumeni n’amubuulira w’aba ateeka essira okusobola okufuna obujulizi obwetaagisa.
Yagambye nti enkola ebaddewo nga poliisi enoonyerezabw’emala n’ewa DPP fayiro yonna bagiyitemu, bagenda kukikomya kati ku buli mutendera bagenda kuba bakolera wamu.yafiira, waali waakayita emyezi ebiri gyokka, nga Pulezidenti yakakasa Paalamenti, nti waaliwo enteekateeka y’okuwandiisa emmundu zonna eziri mu ggwanga kiyambeko okumanya emmundu ebeera ekozeseddwa mu ttemu lyonna. Pulezidenti kino yakitegeeza Palamenti mu June, 2018, kyokka Kirumira n’attibwa mu August