Omusumba Mathias Ssekamanya avuddeyo ku babba ettaka ly’Eklezia
Apr 27, 2023
OMUSUMBA w’e Lugazi eyawummula, Mathias Ssekamanya avumiridde Abakristu abeefunyiridde mu kubba n’okukumpanya ettaka lya Eklezia n’abajjukiza nti kye bakola kikyamu era kiswaza.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
OMUSUMBA w’e Lugazi eyawummula, Mathias Ssekamanya avumiridde Abakristu abeefunyiridde mu kubba n’okukumpanya ettaka lya Eklezia n’abajjukiza nti kye bakola kikyamu era kiswaza.
“Bino byammwe si bya Bafaaza kuba bo bajja ne bagenda, nga nnange bwe nnaweereza wano ne hhenda. Temukyaswala muswaza buswaza. Mube n’emitima egikuuma ebyammwe, mmwe bannannyini bintu bino kuba bisigala byammwe. Ffamire ya Kafeero mutuyambe musasule bakadde bammwe nga munyweza omutima gw’eddiini ate mukuume Obukristu,” Ssekamanya bwe yakkaatirizza.
Yabadde mu mmisa y’okusabira Omutaka Francis Musoke Kakoona 103, ng’ayambibwako Bwanamukulu wa Gayaza Rev. Fr. Jude Makanga mu Eklezia y’omutukuvu Balikuddembe e Kasangati. Mu kiseera kino ab’ennyumba eno bali mu kkooti gye baatwala Eklezia nga bakaayanira poloti ku ttaka lya Eklezia e Gayaza.
Bwanamukulu Makanga yagambye nti poloti eno yaweebwayo Kafeero nga November 23,1950 n’ebiwandiiko weebiri. Ssekamanya yabadde ayogera ku nkolagana ennungi ab’ennyumba ya Kafeero ne Kakoona mw’ava nga bwe baakolagana naye obulungi we yabeerera e Gayaza mu 1972. Yalaama okumusuza mu nnyumbaye ennaku bbiri, n’okumuziika mu mbugo 100 ze yaleka yeegulidde ng’entaana balina kusima ffuuti 15
No Comment