Abaserikale bakwatiddwa ku by’obukadde 137 ezabbiddwa

POLIISI eggalidde abaserikale bàayo abagambibwa okwekoo­baana n’omujàasi wa UPDF ne baluka olukwe mwe babbidde obukadde 137. Abaakwatiddwa ye AIP Robert Byaruhanga ne PC Ali Koko nga kigambibwa nti babadde mu kobaane mwe baanyagidde ssente obukadde 137 ezaabadde zitambuzibwa mu mmotoka.

Omuserikale Ali Koko ng’ali ku mpingu..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Abaserikale #bakwatiddwa #obukadde #ezabbiddwa

 Bya Eria Luyimbazi

POLIISI eggalidde abaserikale bàayo abagambibwa okweko­baana n’omujàasi wa UPDF ne baluka olukwe mwe babbidde obukadde 137. Abaakwatiddwa ye AIP Robert Byaruhanga ne PC Ali Koko nga kigambibwa nti babadde mu kobaane mwe baanyagidde ssente obukadde 137 ezaabadde zitambuzibwa mu mmotoka.

Omwogezi wa poliisi mu Kam­pala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti nga April 28, 2023 abakozi ba kkampuni ya Norin Venteures Ltd okuli Simon Olupot ne Aggrey Agaba baagenda nga ba­kungaanya ssente mu bakasitoma ba kkampuni naddala aba mobile money era ne bakungànya obu­kadde 137 nga baatandika ssaawa 4:00 ku makya ku Arua Park.

Yagambye nti ku ssaawa 9:30 Olupot ne Agaba nga bamaze okukung’aanya ssente baasazewo okugenda ku ofiisi za kkampuni ezisangibwa ku kizimbe kya Prime complex wabula baba batuuse ku kizimbe kya King Fahad ku John­son Street ne wabeerawo abasajja bataano abaali mu ngoye ezaabu­lijjo nga bali wamu n’abaserikale abali mu yunifoomu y’abo abak­kakkanya obujagalalo nga bakutte emmundu ne babeetooloola.

Yategeezezza nti abaserikale bano n’abasajja bano baggye ssente ku Olupot ne Agaba oluvan­nyuma Agaba ne bamuyingiza mmotoka nnamba UAU 719H kyokka Olupot n’adduka.

Yagambye nti okukwata abaseri­kale bano abakuumirwa ku poliisi y’oku kitebe ky’eggaali y’omukka kyaddiridde okwetegereza ebi­faanyi ebyakwatiddwa kkamera z’oku nguudo ebyalaze omupango gw’okubba ssente bwe gwabadde era mmotoka n’ekwatibwa mwe baayingizza Agaba.

Yannyonnyodde nti mu kugaziya okunoonyereza Agaba ne Olupot nabo baakwatiddwa basobole okuyambako mu kunoonyereza kuba obubbi buno bwandibaamu ekobaane era nga bakuumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala.

Yagambye nti poliisi era enoonya abasajja abaabadde mu ngoye ezaabulijjo n’omujaasi wa UPDF ali ku ddaala lya Lutenanti nabo bavunaanibwe nga oku­noonya n’okuzuula ssente ezab­biddwa kugenda mu maaso.

Poliisi yagguddewo fayiro namba SD 29/28/04/2023 enoonyerezeb­wako poliisi ya CPS mu Kampala.