Isma yasoose kukola katambi akalanga okutemulwa kwe

IBRAHIM Tusuubira ‘Isma Olaxes’ baagenze okumukuba amasasi agaamusse abadde amaze ekiseera ng’afuna ebyebikiro n’akola n’akatambi nga yeeraliikirira by’alisanga emagombe.Ng’ayogera mu katambi yagamba nti, ye ng’Omusiraamu akimanyi nti okufa kusobola okujja essaawa yonna. Bye yayogera byatuukiridde bwe yakubiddwa amasasi abantu abatannategeerekeka ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ng’adda ewuwe e Kyanja.

Isma yasoose kukola katambi akalanga okutemulwa kwe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

IBRAHIM Tusuubira ‘Isma Olaxes’ baagenze okumukuba amasasi agaamusse abadde amaze ekiseera ng’afuna ebyebikiro n’akola n’akatambi nga yeeraliikirira by’alisanga emagombe.
Ng’ayogera mu katambi yagamba nti, ye ng’Omusiraamu akimanyi nti okufa kusobola okujja essaawa yonna. Bye yayogera byatuukiridde bwe yakubiddwa amasasi abantu abatannategeerekeka ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ng’adda ewuwe e Kyanja.
Yabadde mu mmotoka Toyota Hiace (drone) nnamba UBK 213D mu mutto gw’omu maaso we baamukubidde teyavuddewo.
Mu katambi agamba nti, “Buli lukya obeera osemberera ntaana yo, hhenda n’endya keeki ne hhamba oba y’esemba, ne ndowooza ennaku egenda okunnumira mu ntaana nga ndi eyo nzekka sikyalina gwe njogera naye.
Abantu bonna banteekeko ettaka bamale bagende, bye saakola mbyejjuse! Era nze kye
nva mbikola omulundi gumu kubanga olunaku lujja kukya mwekubire amasimu nga mwagala kukakasa oba nfudde era we munagamalira nga nze nawedde dda okuziika. Mu nsi muno tewemalangamu nnyo ate teweggyangako kikusanyusa, abantu bakukubira
emizira, naye olunaku lw’ofa, wayitawo eddakiika ntono abooluganda lwo ne batandika okukubira abantu abenjawulo mikwano gyo nga bawoza etusobodde kuziika waliwo
bizinensi ezitusibye.
Abooluganda babeera balowooza ku kiki kye banaaliisa abantu abazze okuziika,
batandika n’okuvuganya ku ani asinze okusonda ku lumbe. Bboosi wo ku mulimu
atandikirawo okunoonya anakuddira mu bigere! Mukyala wo ajja kutandika mpola okukwerabira era obuzannyo bwa ttivvi butandike okumusesa.
Awo omusajja omulala w’anamukwanira amumaleko ekiwuubaalo, olwo nga ggwe
bakwerabidde. Nze ky’ova olaba nkola byange ebinsanyusa kubanga abantu beerabira
mangu.”
ISMA BWE YAFUUKA OLEXAS JJAJJA ICHULI
Bazadde be olwamuzaala baamutuuma Isma Lubega, kyokka olw’embeera Katonda
gy’amuyisizaamu yasalawo okwegattako amannya amalala aga Isma Olexas Jjajja Ichuli n’atuuka n’okwekuza okutuuka ku myaka 59 wadde ng’ekituufu abadde
yazaalibwa 1970.
Buli linnya yalifuna mu biseera bya njawulo era nga waliwo ensonga eyakimukoza n’asobola okumaliriza bye yali apanga. Kigambibwa nti nnyina Lilian
Najjemba Namusisi yali akyasoma ng’abeera ne nnyina Hajat Hadijah Nakiboneka mu Ndeeba mu Kampala yasisinkana Muhammad Kasajja ‘Mutabuliiki’ eyalina ggalagi
n’amufunyisa olubuto.
Omwana gwe yazaala ne bamutuuma Isma Lubega kyokka n’amulwalirira nnyo nga tebava mu ddwaaliro. Buli lwe bamubuuzanga embeera y’omwana ng’abaddemu
nti, tusuubira ajja kuba bulungi awo we waava erinnya lya ‘Tusuubira’ Olw’okuba nnyina yazaala muto yawalirizibwa okuwaayo Isma ewa kitaawe era yagenda okuwasa omulala nga ye waali muzaale.
Azze akiddihhana mu mboozi ze nti olw’okuba kitaawe yalinako ku ssente yamuweerera mu masomero amalungi nga Nkoyooyo Primary School, Hassan Thourabi e Bweyogerere, Gombe SS gye yava okugenda e Makerere n’akola diguli
mu byenfuna. Teyakola mirimu gya ofiisi obulamu bwe obusinga yabumala ku Wilson Road ng’atunda masimu ewa Hamphley Mayanja (muganda wa Chameleon). Mukwano gwe Connie we yamuggya okumupangira n’agenda e Sweden okukuba
ekyeyo.
Ng’ali ku kyeyo bwe yafuna empapula ezimukkiriza okubeerayo yasanyuka nnyo n’agamba nti kati nsobola okutuuka mu buli kifo ‘I can access all places’ - mu bigambo
bye bye yafunza nti, Olaxes, erinnya
ne likala. Okufuuka Jjajja Ichuli, Joseph Wajjala omutegesi wa Million Dollar Party yagambye nti Isma obulamu bwamukaluubirira nnyo e Sweden n’apanga n’addukirako e
Denmark n’amusuzaako okumala akaseera.
Eyo gye yapangira okukomawo e Uganda. Bakkaanya atandike okweyita erinnya lya Jjajja Ichuli ekitegeeza jjajja omugezi. Ichuli kaali kamyu akamanyiddwa nga Wakayima mu butabo obw’engero nga kagezi. Yalina okweyongeza myaka atuukane n’ekya jjajja.
Wajjala yamugulira tikiti y’ennyonyo ne bajja bonna ku ‘party’ ye mu 2018 era baggukira mu Governor. Bwe yali ayogera ne bannamawulire yagamba nti yakomawo mu Uganda nga tamanyi waakutandikira.
Ew’omubaka Muhammad Nsereko (Kampala Central) e Bugoloobi gye yasooka okubeera ku mizigo gye n’amugulira n’ebintu by’omu
nnyumba byonna eby’omulembe. Yamuwa ne ofiisi ye gye yali tabeeramu nnyo ku Oasis Mall. Olumu ng’ali ku mukolo gye yasisinkana Hamis Kiggundu (HAM n’amusaba okumusisinkana. Lwe yagendayo n’amuwa amagezi akole
kkampuni esiiga langi n’okufunira abantu poloti era agiwandiise n’amuwa obukadde 20 zimuyambeko ne yeepangisiza ennyumba e Najjeera.
Obulamu bwe abadde yeenyumiriza nnyo mu kusisinkana Pulezidenti Museveni mu 2020.