KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakiise mu Lukiiko lwa Olukulu okukubiriza abantu mu bitundu byabwe benyigire mu kulonda abakulembeze eggwanga kwerigendamu omwaka ogujja.
Mayiga era abasabye okujjukiza abantu nga bagenda okulonda, batunulire abo abawa Obwakabaka ekitiibwa era abatambula nabwo.
Katikkiro Mayiga ng'ali mu kifananyi n'abamu ku bakiise b'olukiiko
Okwogera bino abadde aggulawo olusirika lw'abakiise b'Olukiiko lwa Buganda olwa 2025 olugenda mu maaso e Butikkiro e Mmengo nga lwategekeddwa wansi w'omulamwa ogugamba nti " Olukiiko mu kuzimba Buganda eyamaanyi n'Essuubi".
" Abantu baleme kutya kwenyigira mu kulonda olweebyo byebalaba okuli ttiyagaasi, ettemu, effujjo n'ebirala. Naye bwobeera n'oluggi wadde si lugumu bulungi, teweggala? Gwoyagala ku Bwapulezidenti bwatayitamu, wakiri onayisaamu Omubaka wa Palamenti n'ebifo ebirala. Abantu mu bagambe benyigire mu kulonda," Mayiga bwagambye.
Katikkiro Mayiga era asabye abakiise bano Okuzimba obumu mu bantu b'ebitundu byebakikkirira, obuwereeza lwebujja okutuuka wansi.
Ye Omukubiriza w'Olukiiko luno, Patrick Mugumbule mu bubaka bwe obusoose mu kuggulawo Omukolo guno ateegezezza nga bwebatandiika enkola y'okutambuza enkiiko mu bitundu bwatyo n'asaba abakiise okubeerayo wansi mu Masaza gaabwe.
Abamu ku bakiise nga Bali mu Butikkiro e Mmengo nga September 25,2025
Ssentebe w'abaami b'amasaza ga Buganda, Kkangaawo Ronald Mulondo akulembera essaza ly'e Bulemeezi yeebazizza Obwakabaka olw'okuteekawo enteekateeka ng'eno okubangula abakiise ku nja y'emirimu.
Olusirika luno lubaddemu emisomo egy'enjawulo okuli ogukwata ku bulimi bw'emmwaanyi nga guwereddwa Omukiise Dr. George William Kasumba wamu ne Dr. Joseph Nkandu okuva ku Yunivasite e Makerere.
Minisita w'ebyobulimi mu Buganda Hajj Amisi Kakomo ategeezeezza ng'Obwakabaka bwe buli mu nteekateeka y'okwongera ku muwendo gw'abalimisa mu Masaza ga Buganda ate n'obungi bw'emmerezo z'endokwa z'emmwaanyi.
Omusomo omulala gukutte ku nneeyisa y'Abakiise b'Olukiiko nga guwereddwa Omukiise w'abavubuka Dr. Rashid Lukwago ate ogukutte ku nkuza n'engunjula y'Abavubuka mu Buganda nga guwereddwa Dr. Jerome Ntege okuva ku Yunivasite e Makerere.
Dr. Ntege asabye Obwakabaka okuteeka essira ku kuteekawo enkola ezinayamba okutumbula abavubuka nga baanukula ebibuuzo ebiwerako okuli abavubuka Bali ludda wa, Bakola ki, Boogera naani era Boogera ku biki?
Minisita w'abavubuka mu Buganda, Robert Sserwanga asabye abakiise mu mirimu gyaabwe okukulembeza abavubuka kubanga gwe musingi ogwenkya era y'ensonga lwaki Obwakabaka butadde essira ku bavubuka.
Olusirika luno luggaddwawo Omukubiriza Mugumbule ng'asabye abakiise okwenyumiriza mu buwereeza bwaabwe eri Kabaka kubanga buwereeza bwa Kitiibwa mu ggwanga lya Buganda era basaanye okubwenyumirizaamu.