Abakrisitu b’e Mpala basondedde omusomesa ssente z’embaga

LYABADDE ssanyu ng’abakrisitu ab’ekisomesa ekya Queen of Martyrs Church e Mpala mu Katabi Town Council basondera embaga y’omusomesa waabwe.

Kayiwa n’ekyebbeeyi kye.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

LYABADDE ssanyu ng’abakrisitu ab’ekisomesa ekya Queen of Martyrs Church e Mpala mu Katabi Town Council basondera embaga y’omusomesa waabwe.
Bino byabadde ku kigo ky’e Mpala, Emmanuel Kayiwa (47) asomesa eddiini mu masomero n’okuteekateeka abaana abanaasembera mu Klezia nga bamutongoleza enkiiko z’embaga ye eneebaawo nga November 7, 2025.
Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. Augustine Innocent Bukenya y’omu ku beesunze embaga eno era yategeezezza nti okubulwa okukkiriza kye kivaako abamu okutya embaga. Yagambye nti Katonda ye yassaawo okugattibwa era akwagala nga bw’osalawo n’okitandika, Mukama assaamu amafuta n’obuwanguzi.
Yasabye abantu obutatya mikolo olw’enfuna yaabwe, beeweeyo ate n’asaba abazadde okutegeera abafumbo kye bagendamu awatali kutunuulira byanfuna eby’olunaku olumu. Obwedda buli Mukrisitu asituka okwogera, olw’essanyu teyeeyama wabula asasulirawo ssente zonna oba ekitundu kyazo era mmisa yagenze okuggwa ng’obukadde obusoba mu 7 bwebusondeddwa.
Ssaalaongo John Bob Kiwanuka ku lwa famire ya Kayiwa, yasiimye abakrisitu olw’omukwano gwe babalaze mu nteekateeka zino. Kayiwa naye yasiimye bonna abaamubeereddewo kyokka kata abasse enseko ng’abanyumiza olugendo lwe ku mukwano.
Yanyumiza nti, “Ku myaka gyange 47, ono ye mukyala asoose mu bulamu bwange kuba nayagala nnyo obufumbo obw’empeta era bwe bwatuwaliriza okubeera ffembi. Saamukwanako wabula ffembi tweraba bwerabi era naye lwe yasooka okundaba, we yansiimira.”
“Tubadde mu mukwano ogw’ewala nga tuwuliziganya nnyo okutuusa lumu lwe yansabayo ku bifaananyi byange. Bwe nabimuweereza, yabiraga ab’ewaabwe n’abagamba nti, Ono ye musajja gwe ndeeta,” Kayiwa bwe yagasseeko.
Omugole omukyala lwe yakomawo okuva emitala w’amayanja, lwe twayingira enju yaffe. Omugole yagamba nti yava ebweru ng’ajjiridde ye. “Era buli lunaku ambuuza we ntuuse ku kumuwasa wa naye kati ke kaseera ategeere nti ndi ssiriyaasi,” Kayiwa bwe yategeezezza.
Olivia Akatwebembera waakukyaza Kayiwa mu bazadde be e Ibanda nga November 1, 2025 ate embaga ebeerewo nga November 7 ku Klezia e Mpala