ESSAZA lya Eklezia ery’e Jinja, erigenda okutegeka olunaku lw’Abajulizi nga June 3, e Namugongo, likyagenda mu maaso n’okuttaanya enteekateeka zaalyo.
Akakiiko akalulira enteekateeka zino aka Central Committee kaategese ekyeggulo
ky’okusonda ssente ku Speke Courts Hotel e Jinja nga kyetabiddwaamu ebigo munaana
ebikola Jinja Deanary.
Omusumba w’e Jinja, Charles Martin Wamika yategeezezza nti beetaaga obuwumbi bubiri n’obukadde 200 okutegeka omukolo guno.
Eyakulidde okusonda ssente, yabadde omumyuka owookubiri owa Katuukiro wa Busoga, Osman Ahmed Noor eyeetisse obubaka bwa Kyabazinga William Gabula Nadiope IV awamu ne Katuukiro wa Busoga Dr. oseph Muvawala.
Osman yasiimye akakiiko okumulonda okubeera mmemba era nga y’akiikirira Obwakyabazinga ku kakiiko. Yatuusizza obubaka obw’okwetonda kwa minisita mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, Justine Kasule Lumumba ataasobodde kubaawo.
Kasule Lumumba ye muyima era ssentebe w’akakiiko ak’ebyensimbi ku kakiiko akakulu akategeka emikolo egy’okulamaga e Namugongo. Baasonze obukadde obusoba mu 12 okuva ku kijjulo kino, era nga Osman yatunze ekifaananyi kya Kyabazinga awamu n’eky’Omusumba wa Jinja Charles Martin Wamika. Yasiimye abakulira ettabi lya Centenary Bank e Jinja abaawaddeyo cceeke ya bukadde busatu awamu n’aba Speke Courts abaawaddeyo akakadde kamu. Abeetabye ku kijjulo buli omu yeesasulidde eby’okunywa n’ebyokulya era ssente ezaavuddemu zaayongeddwa ku zaasondeddwa. Osman yayongeddeko nti gye buvuddeko yakwatagana n’akakiiko akategesi ne bagenda mu kkampuni ya MTN Uganda era baggyayo ettu lya ssente z’ataayatuukirizza era n’asiima aba MTN okuvaayo ne bawagira omulamwa gwe baliko. Bwanamukulu wa Lutikko y’e Jinja, Fr. Bosco Etyang yategeezeza nti Abakatoliki abeetabye mu kijjulo baavudde mu bigo munaana okwabadde ekya Our Lady of Fatima, Cathedral,
Bugembe, Kakira, Kagoma, Wansimba ne Buyala. Abamu ku baabaddewo ku kijjulo kwabaddeko minisita w’ebyamawulire owa Busoga Michael Kifubangabo