Ssentebe w’olukiiko lwa Bible Society  Dokita Mark Richard Ssajjabbi ayogedde ku bulamu bw'omugenzi Dr Mukhama

Omugenzi Simon Peter Mukhama abadde Ssabawandiisi w’ekibiina kya Bible Society of Uganda ekikola omulimo gw’okufulumya, okusaasaanya , n’okukyusa Bayibuli mu nnimi enzaalilanwa, ey’afiira mu ddwaliro ly’e Mengo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, abadde asabira nnyo mu Kkanisa Lutikko ey’Abatukuvu bonna e Nakasero, era ng’akolerayo nnyo obuweereza bwe obw’okwagaza Abakuristaayo ekigambo kya Katonda, n’okukisaasaanya.   

Okusabira omwoyo gw'omugenzi Dr Mukhama
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Omugenzi Simon Peter Mukhama abadde Ssabawandiisi w’ekibiina kya Bible Society of Uganda ekikola omulimo gw’okufulumya, okusaasaanya , n’okukyusa Bayibuli mu nnimi enzaalilanwa, ey’afiira mu ddwaliro ly’e Mengo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, abadde asabira nnyo mu Kkanisa Lutikko ey’Abatukuvu bonna e Nakasero, era ng’akolerayo nnyo obuweereza bwe obw’okwagaza Abakuristaayo ekigambo kya Katonda, n’okukisaasaanya.

Abakungubazi nga bakuba eriiso evvannyuuma ku Dr Mukhama

Abakungubazi nga bakuba eriiso evvannyuuma ku Dr Mukhama

Eno nno y’ensonga lwaki bweyafudde, Ekkanisa eno yeyasoose okutegeka okusaba okw’okumusiibula. Okusaba kuno kwabaddewo ku Lwomukaaga, kwetabiddwako abakungubazi bangi, abaavudde mu ddiini ez’enjawulo.

Bweyabadde ayigiriza mukusaba kuno, Omulabirzi eyawummula owa Madi- West Nile, Joel Obetia y’atenderezza nnyo Simon Peter Mukhama  gweyagambye nti awaddeyo obulamu bwe, n’amaanyi ge gonna, okusaasaanya ekigambo kya Katonda.

Pastor Wilson Bugembe ng'abuuza ku bakungubazi

Pastor Wilson Bugembe ng'abuuza ku bakungubazi

Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Bible Society, Faaza Dokita Mark Richard Ssajjabbi naye y’asiimye nnyo obukulembeze bwa Dokita Mukhama obulungi, bweyagambye nti bukulaakulanyizza era nebutumbula emirimo gya Bible Society.

Mukyala w’omugenzi, Ruth Mukhama bba y’amwogeddeko nga omwami omulungi, abadde ayagala ennyo abaana be n’amakaage.

Omugenzi Dokita Simon Peter Mukhama (54) y’aziikiddwa mu makaage e Nabumali, mu disitulikiti y’e Mbale, ku LwokubirI (May  16, 2023).