Eyaliko munnamagye n'agannyuka, Maj. Gen. (Rtd) Gregory Mugisha Muntu olwaleero ayolekedde Mitooma gy'agenda okutambula ng'awenja akalulu akanaamutwala ku ntebe y'obwapulezidenti bw'eggwanga Uganda.
Maj. Gen. (Rtd) Muntu nga yaakatuuka
Ono asinzidde mu kabuga k’e Katenga mu disitulikiti y’e Mitooma gy’akubye olukung’aana olulala ssinziggu, n’abuulira abantu ppulaani nnamutaayiika z’agenda okuteekawo okuzza eggwanga engulu ssinga bamulonda.
Muntu ng'annyonnyola abantu.
Ategeezezza abantu nti ekimu ku bizibu ebiruma Uganda era ebigireetedde emitawaana kwe kuggya ekkomo ku myaka abavuganya ku bwapulezidenti gye balina okubeera nagyo.
Yeeyamye okutereeza eggwanga n'okulaba ng'ebizibu ebirala ng'emisolo egyekanamye n'amagoba agateekebwa ku looni abantu ze baggya mu bbanka nga bikendeezebwa.