AMYUKA Sipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa asuubizza bannabitone nti palamenti yaakuyisa mu bwangu okukubaganya ebirowoozo ku nnongoosereza mu tteeka eritwala ebiyiiye.
Tayebwa (wakati) Ne Mukyala We (ku Kkono) ne Irene Kaggwa (ku ddyo) we baabadde batuuka mu Kifo.
Okwogera bino yabadde ku mukolo gw’okusiima abazannyi ba ffirimu abakoze obulungi ogwa Uganda Film Festival ogwabadde e Nakawa ku Uganda Institute of Communication and Technology ogwabaddewo wiiki ewedde.
Tayebwa yagambye nti palamenti erinze abantu abakola ku nnongoosereza ezo okuzitwalayo olwo nno batandike okuzikubaganyaako ebirowoozo.
Mariam Ndagire Yawangudde Lifetime Achievement Award
Yayongeddeko nti waakufuba okulaba nti ennongoosereza ezo zijja kukolebwako mu nnaku ntono ddala nga yabawadde 45 zokka nti era agenda kufuba okulaba nga bannabitone abali mu palamenti baweebwa enkizo okuziteesaako okusobola okukiikirira bannaabwe olwo nno etteeka liyisibwe nga libayamba.
Nana Kagga eyawangudde Best Feature Film Ng'ayogerako Eri Abantu.
Abamu ku bannabitone abawangudde engule kwe kuli Mariam Ndagire eyawangudde Life time achievement, Henry Nathan Katongole yawangudde Best Actor in feature film, Diana Nabatanzi eya Best Actress in Tv Drama, Tracy Kababiito Best actress in Feature Film n’abalala bangi.
Irene Kaggwa Ssewankambo, akulira Uganda Communications Commission (UCC) nga be bali emabega w’empaka zino yeebazizza abazannyi ba ffirimu olw’okwongeramu omutindo mu ffirimu zaabwe n’obuyiiya.
Jose Chameleone Ng'ayimba Ku Uganda Film Festival.
Yategeezezza nti musanyufu nnyo nti emukutu gya wano okuli zi ttivi zongedde okulaga ffirimu za bantu ba wano nga kino kibazzaamu amaanyi.
Guno gwe gwabadde omulundi ogw’e 10 ng’empaka zino zitegekebwa abayimbi okwabadde Jose Chameleone ne Irene Ntale baabaddeyo nnyo okucamula abantu.