Abakungu okuva ku kitebe kya Buswidi mu Uganda, nga bakulembeddwa Ulf Kjallstig, akulira Swedish International Development Agency mu Africa bawuniikiridde olw'obuyiiya bwa bayizi ba Kololo ss bwe boolesezza mu kukuuma obutonde bw'ensi .

Ebimu ku bintu bye bakola mu bicupa.
Abayizi abali wansi wa pulojekiti ya Green Schools eggulo ku Lwokutaano baalaze obuyiiya obw’ekika ekya waggulu bwe baayolesezza engeri ez’enjawulo ze basobola okukozesaamu obucupa bwa pulasitiika n’ebibookisi ssaako obuveera ebiba bisuuliddwa nga kasasiro mu ssomero.
“Omupiira guno gusobola okusambibwa mu mpaka z’ensi yonna,” Kjallstig bwe yategeezezza abayizi nga bamaze okumulaga omupiira gwe baakoze mu buveera n’ebyayi.
Abayizi abaakulembeddwa munnaabwe Gordon Museme ali mu S5 baalaze abagenyi ekisero kye yayise bwaguuga ekiyinza okukola emirimu egy’enjawulo nga kino nakyo baakikola mu bicupa.

Abayizi nga bawuliriza.
Museme yannyonnyodde nti ekisero kino kisobola okukola nga ekung’aanyizo lya kasasiro, ery’engoye oba ng’ekintu ky’osituliramu ekintu kyonna ky’oyagala.
Mu bagenyi bano mwe mwabadde n’akulira kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama.
Bino yabadde abitegeeza abakungu abaatutte eddakiika eziwera 45 nga balambula omwoleso guno ogwabadde ku ssomero.
Wanyama yakubirizza abayizi okutwala mu maaso obuyiiya buno era n’ategeeza nti ekidomola ekyakyusiddwa ne bakikolamu ensawo esitulikika kisobola okutereka emmere n’esigala nga eyokya bulungi.
Mu birala ebyayoleseddwa mulimu n’akanyonyi ka nnamunkanga akatono ke baakoze mu pulasitiika, engoye ezisobola okwambalibwa mu myoleso gy'ebyemisono n’emizannyo, ssaako ebirala bingi.
Abayizi okuli Atuhaire Bonnie baategeezezza nti pulojekiti eno bagifunamu ensimbi era nti ebintu byabwe babitunda wakati wa 5,000/= ne 90,000/=.
Omu ku bagenyi yaguze omuguwa gwa pulasitiika ku 10,000/= oluvannyuma lwa Wanyama okugwogerako nti baaguluse bulungi.
Senyonga Derrick, ofiisa omukulu avunaanyizibwa ku byenkyukakyuka y’obudde mu minisitule y’amazzi n’obutonde yategeezezza nti ebizibu ebitondebwawo ng’obutonde bukyuse byetooloolera ku mataba.
Yayongeddeko nti kikulu basomese abantu ku bino kubanga kikyusa endowooza za bantu ku butonde.
Kjallstig yagambye nti yeesunga okukomawo e Uganda oluvannyuma lw’emyaka 10 alabe w’etuuse ku by’okukuuma obutonde nga ne Gavumenti, abalwanirizi baabwo saako abavunaanyizibwa obutereevu bonna bakolera wamu.
Olukyala luno kimu ku ebyo ebyo ebirina okukolebwa wansi wa pulojekiti ya Green Schools, ewomeddwamu omutwe New Vision ng'eri wamu n'ekitongole ky'emmere mu nsi yonna ekya FAO nga bivujjiririwa ekitebe kya Buswidi mu Uganda.