Madaamu, nkulamusizza. Ondabidde ku kiwala ekirungi ekirina amaaso ag’endege, amannyo gaakyo nga gatukula okukira omuzira?
Sinnakirabako, ndowooza weeyongereko mu maaso eyo.
Tebaakuyigiriza kusomera bbaluwa mu bbaasa? Tokiraba nti omuwala gwe njogerako ye ggwe?
Nassuuna Mu Biseera Bye Eby'eddembe.
Bw’ompa ku linnya lyo, omulimu gw’okola, gy’obeera n’ennamba y’essimu awo mu kuziika kwange ne bw’otojja...
Nze Joan Nassuuna, mbeera Kazo - Lugoba nga ndi musuubuzi.
Akanamba k’essimu okeerabidde mukwano?
Mpozzi nga bbebi Rayan Kimbugwe, anzikirizza okugikuwa naye ekitali ekyo, togenda kugifuna.
Onkubye omuggo mwana ggwe! Ku buto bw’oliko n’entunula yo, obufumbo wabuyingira ddi?
Mbumazeemu emyaka egiwera.
Bwana Kimbugwe yakugamba kagambo ki ako akaakusensera obwongo naawe n’olayira okumufiirako?
Omulundi gwe ogwasooka okunjogereza, yang'amba agenda kumpasa ne ndowooza abyogeza buto.
Otandise okunyumisa emboozi! Yayongerako ki ekirala ekyakulalula?
Mbu ndi mulungi nnyo, mbu ne bw’aliba atuuse ku ssaawa y’okufa ne bamugamba alondeko ku nze n’obulamu, alironda nze kuba nze bulamu bwe.
Awo Kimbugwe yakisussaamu! Nga bw’oli omwana omuwala eyayitako ewa ssenga, Kimbugwe wamusasulamu ki ng’akasiimo?
Namuzaalirayo abaana babiri; omuwala n’omulenzi.
Mpaayo olunaku lumu bbebi Kimbugwe lwe yakukolera ekintu kye wali tosuubira n’omutuumirawo omuggalanda w’abasajja?
Lwali lunaku lw’abaagalana, lwe yandeetera ekimuli kya ssente ne kkeeki ng’ate nnali nkimanyi bulungi talina ssente. Na kati nkyamwebaza.
Wadde Kimbugwe omwagala nnyo, mpaayo ekintu kimu ky’ayinza okukukola n’otamuzzaako mukono?
Okundeetera omwana nga muto ku bange be nzadde, awo mannya yabalize. Mpozzi bw’aba yamuzaala sinnazaala bange, awo mba nkitegeera.
Abawala abalungi n’okutiisatiisa...! Kati mbu bw’amuleeta n’oba ki gwe banaaba tebagobye mu bufumbo?
Awo ebyange naye we bikoma! Ffe abambejja tebatugatikka.
Wadde Kimbugwe akoze buli kimu ekiraga nti akwagala, kintu ki ky’ogamba nti kikyamulemye okukola?
Tannaba kunteekako mpeta ate nga mmugumiikirizza nnyo. Ekyo bw’anaakikola, nja kuba si kyamubanja.
Ndowooza awulidde
Nange nsiiba nkimujjukiza.