Amawulire

Musisi eyakogga n'aggwaawo olwa DNA afunye abamubudaabuda

Oluvannyuma lwa Bukedde okulaga embeera Ibrahim Musisi gy'alimu egambibwa nti yaleetebwa ebirowoozo n'okweraliikirira olw'okuggyibwaako omwana we omu yekka gwe Yalina

Musisi eyakogga n'aggwaawo olwa DNA afunye abamubudaabuda
By: Joanita Nakatte, Journalists @New Vision

Oluvannyuma lwa Bukedde okulaga embeera Ibrahim Musisi gy'alimu egambibwa nti yaleetebwa ebirowoozo n'okweraliikirira olw'okuggyibwaako omwana we omu yekka gwe Yalina, Leticia Kiconco, ono afunye abakugu abagenda okumubudaabuda n'okumuwa obujjanjabi obw'obwongo abagenda okumuyambako okumwerabiza embeera eno ey'ennyiike n'okulaba ng'addawo mu mbeera eyeeyagaza gye yalimu mu kusooka.

Musisi N'omusawo Ssekagya Mukwano Gwe Amujjanjaba.

Musisi N'omusawo Ssekagya Mukwano Gwe Amujjanjaba.

Musisi asangiddwa mu ddwaaliro lya Ebenezer Medical Centre gy'afunira obujjanjabi olw'ekigere ekyatana oluvannyuma lw'okulinnya ku musumaali.

Vicent Ssekaggya omusawo mukwano gwa Musisi aludde ng’amujjanjaba ategeezezza nga Musisi bw'ataasigala kye kimu okuva lwe yaggyibwaako omwana we era ng’okuva kw’olwo azze atawaanyizibwa endwadde ez’enjawulo.

Mu zino mulimu okuva omusaayi mu nnyindo ne mu matu, puleesa era nga ne gye buvuddeko yazuuliddwaamu n'obulwadde obulala obwa sukaali abadde waggulu ennyo obusuubirwa okuvaako kanaaluzaala w'ebbwa ly'alina eddene ku kugulu okugaana okuwona eribeeraliikiriza okufuuka kookoolo.

Ekigere Kya Musisi Ekyatana Oluvannyuma Lw'okulinnya Ku Musumaali.

Ssekaggya wano w’asinzidde n’asaba abazirakisa okuvaayo okulaba nga Musisi ayambibwa okufuna obujjanjabi obusingako okwewala ebiyinza okuddirira nga kw’ogasse n’okubuulirirwa olw’ebirowoozo eby’okwetta by’afuna buli kadde oluvannyuma lw’okwekyawa olw’ebyamutuukako.

Ali male, okuva mu kitongole kya A to Z Professional Counselling and Support Centre yagambye nti baawaliriziddwa ng’ekitongole okujja okubudaabuda Musisi oluvannyuma lwa Bukedde okusaasaanya emboozi ye era ng’ebimu ku bye bazudde ebyasingira ddala okukosa Musisi kwe kuggyibwaako omwana we mu ngeri ey’amankwetu nga tebasoose yadde okumuyisa mu mitendera egimuleetera okukkiriza embeera eno.

Akayumba Musisi W'asula

“Embeera eno yamuleetera obulabe obw’amaanyi ku bwongo era alina obubonero bwonna obw’okwennyamira abantu abayise mu mbeera embi ennyo bwe babeera nabwo ne batuuka n’okwagala okwetta," Male bwe yagambye.

Yayongeddeko nti abeera alina ekiruubirira buli kiseera okulaba ku mwana we,era nti oluusi amanyi n’okumala gatambula ng’amunoonya kyokka nga tamanyi gy’adda, afuna obubonero obw’okwerumika n’embeera endala era twagala okumuyamba okulaba ng’atereera kubanga omusajja eyali omunene bw’atuuka okukogokka n’aggwaawo bwati mu butuufu kyennyamiza nnyo era kikwasa ennaku.

Ayongeddeko nga bwe bagenda okumukyaliranga ennaku bbiri mu buli wiiki n’okumukubiranga essimu buli lunaku okulaba nga bamubudaabuda n’okwerabira embeera eno.

Male Ng'akwasa Musisi Obuyambi Obumuweereddwa. Okuva Mu Kitongole.

Male Ng'akwasa Musisi Obuyambi Obumuweereddwa. Okuva Mu Kitongole.

Ye Musisi kati eyeefunirayo n’omukyala omulala yategeezezza  nga bwe yalaba muwala we ku ttivvi emu ng’ayimba n’abukeereza nkokola okugenda ku ssomero eryo erisangibwa e Gayaza wabula ng’ono yatuula ku ggeeti okumala olunaku lulamba oluvannyuma lwa bakuumi okumulemesa okuyingira.

 

Tags:
Amawulire
DNA
Mwana
Mukono
Musisi
Bukedde