Omugagga alekedde akawala obuwumbi 400 ku akawunti

ONO omuwala yanaaba olweza ne lunoga ate n’omusajja gwe yafuna n’amutuukira ddala nga Nalunga bwe yatuuka Ssekabaka Jjuuko.

Berlusconi 86 ne muganzi we Marta 33.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ONO omuwala yanaaba olweza ne lunoga ate n’omusajja gwe yafuna n’amutuukira ddala nga Nalunga bwe yatuuka Ssekabaka Jjuuko.

Naggagga Silvio Berlusconi 86, eyaliko Katikkiiro wa Yitale, nnannyini era pulezidenti wa ttiimu y’omupiira eya AC Milan, omusuubuzi eyalina bbanka ez’enjawulo, kkampuni z’amawulire leediyo, ttivi n’empapula ssaako kkampuni ezikuba ebitabo nga yafudde mwezi guwedde alekedde akawala ke yaganza mu 2022 obuwumbi 402 obukadde 362 ne ssente 238,700/-!
Berlusconi wadde abadde kinvinvi, abadde amanyiddwa ng’omusajja atali mutene mu by’okuganza bamaama era ng’abadde ayogerwako nti tasulirawo. Era n’omuwala Marta Antonia Fascina gwe yagonnomoddeko omusimbi abadde amusinza emyaka 53 be ddu kuba alina emyaka 33 gyokka nga ne muwala we omukulu, Marina Berlusconi 57, amusinga.
Marta yasisinkana Berlusconi mu 2022 oluvannyma lw’okwegatta ku kibiina ky’ebyobufuzi Berlusconi kye yatandika ekya Forza Italia ne yeesimbawo era n’ayitamu n’afuuka omubaka wa palamenti mu Yitale.
Wadde Berlusconi azze apepeya n’abakazi bangi ebbali w’obufumbo bwe, Fascina okujja mu bulamu bwa musajjamukulu Berlusconi tebwasigala kye kimu. Ng’oggyeeko Berlusconi okwagala okukola ebintu bingi okusanyusa omuwala ono omuto mu mukwano, abadde yeefumba olususu okukweka enkanyanya. Laavu gye yasuna ewa musaayimuto, yamenya mukyalamukulu Francesca Pascale omutima n’anoba nga talina gavuganya na kawala kato.
Ebyo Berlusconi tebyamuyigula ttama n’asalawo agattibwe n’omuwala ono wabula abaana be kino ne bakisimbira ekkuuli nga balaba kitaabwe okwesiba ku kawala ak’emyaka 33 kyokka nga ye wa 86, kwali kwerijja kwennyini nga balaba omuwala agenda kukanula kitaabwe mu by’omukwano bamufiirwe mu by’olusaago.
Ng’oggyeeko eky’emyaka, abadde alina obulwadde bwa kookolo w’omu musaayi nga n’amaanyi balaba gamuwedde.
Omusajja ono abadde wa mbazuulu mu bulamu bwe obwabulijjo era omwejaasi. Abaana be olw’okugezaako okumulemesa ekijujulu kye, yabatebuka n’ategeka mu kyama akabaga ne mikwano gye emitono bo nga tabayise nga March 19, 2022 n’abategeeza nti, bo bennyini beegasse mu mukwano ne mu musaayi.
Abaana ebifaanananyi byabyekangira ku yintaneeti. Mu kuvulubana omukwano yagenda mu maaso n’akyusa n’ekiraamo kye n’alaama nti bw’afanga, bateeke ssente za Euro obukadde 100 ku akawunti y’omuwala ono kubanga abadde amumetta laavu ‘supa’.
Berlusconi ajjukirwa okutegekanga obubaga obwayitibwanga ‘Bunga Bunga’ nga bwabangako abawala abatiba ng’ekigendererwa kya kwetaba mu mukwano era lumu yeewaana nti, yeegattako n’abawala munaana mu kiro kimu nga kino kata kimuggyise mu ntebe y’obwakatikkiro wa Yitale.
Kigambibwa nti n’abawala ababalagavu abamu baakukusibwanga okuva mu mawanga ga Africa ng’abamu baabanga bato. Omusango guno gwamusinga mu 2012 ku muwala eyava e Morocco