Amawulire

Omulamuzi avudde mu gwa Paasita Male ne Mabiriizi

OMULAMUZI wa Kkooti Enku­lu e Mukono, Christine Kaahwa agaanye okuwulira omusango gwa looya Male Mabiriizi, Pr. Solmon Male gwe yateekayo ng’ajulira ku by’okubakebera DNA.

Mabirizi n'Omusumba Male
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

 Bya Alice Namutebi

OMULAMUZI wa Kkooti Enku­lu e Mukono, Christine Kaahwa agaanye okuwulira omusango gwa looya Male Mabiriizi, Pr. Solmon Male gwe yateekayo ng’ajulira ku by’okubakebera DNA.

Fayiro yali eweereddwa Omu­lamuzi Kaahwa kyokka eggulo yagivuddemu nga tawadde nsonga yonna. Yagisindise ew’omuwandiisi wa kkooti balo­nde omulamuzi omulala awulire omusango guno.

Fayiro eno kati yaweereddwa Omulamuzi David Matovu aku­lira Kkooti Enkulu e Mukono.

Dna Test

Dna Test

Nga balinda okuwulira okujulira kwa Paasita Male, ate Mabiriizi yataddeyo naye okuju­lira ng’agamba nti Omulamuzi wa kkooti eya wansi Paul Matya­ma yakola nsobi okugaana oku­ziikula omulambo gwa kitaabwe Hajji Mohammed Bazinduuse Lulibedda Mutumba kwe baba babakeberera DNA.

MabirIizi ye yaloopa omu­sango era eky'okugenda ku DNA akiwagira naye agamba nti kirina kukolebwa ku kitaabwe Mutumba bamuggyeko ak­agumba kwe baba basinziira.

Paasita Male ekya DNA akiwakanya ng’awa ensonga nti ekiraamo ky'omugenzi weekiri tekyogera ku Mabiriizi ate omu­genzi yababuulira nti Mabirizi si y’amuzaala.

Olutalo lwa Mabirizi ne Male lwatandika baganda be bwe bagoba Mabiriizi ewa kitaawe e Wakaliga Lubaga nga bagamba nti si mwana wa kitaabwe.

Mabiriizi yabaloopa mu kkooti ng’ agamba nti batyoboola ed­dembe lye ery'okubaako famire n'obuwangwa mw’agwa n’asaba kkooti eragire bonna abeeyita abaana b'omugenzi bagende ku DNA amazima gaveeyo.

Male ne baganda be abalala abaayabya olumbe lwa kitaabwe buli omu n’afuna omugabo naye kkooti byonna yabisazaamu

Tags:
omulamuzi
avudde
paasita
Male
Mabiriizi